
Bya Shafik Miiro
Lukuli – Kyaddondo
Ssaabawolereza w’ Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika akubirizza abazadde okukulembera olutalo lw’ okuzza empisa mu baana kitaase ebiseera by’ eggwanga eby’omu maaso.
Obubaka buno, Owek. Bwanika abuweeredde ku ssomero Stena Hill Secondary School e Lukuli, Nanganda abayizi gyeboolesereza talanta zaabwe wansi, “Obuwangwa bwaffe, bwe busika bwaffe.”
Owek. Bwanika agamba nti Eggwanga erigumidde litandikira ku maka kubanga y’ensibuko y’empisa ez’obugunjufu n’obuntulamu.
Ono agasseeko nti amasomero nga bwe gagunjula abaana kubanga ge gabeera nabo obudde obungi, n’abazadde bateekwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe abaana okusobola okuvaamu obulungi.
Owek. Bwanika agamba nti emize mingi egibaluseewo ensangi zino okuli okukozesa ebiragalalagala, ebisiyaga, obubbi n’obuyaaye ate nga bisinga mu bavubuka nga walina okubaako ekikolebwa okutaasa abaana b’eggwanga.
Akuutidde abazadde okudda ku nnono n’obuwangwa ebirambika butya omuntu bw’alina okweyisa obulungi era kino nga si kya Buganda yokka wabula n’ebintu bya Uganda ebirala n’Ensi okutwaliza awamu.

Owek. Bwanika era nga ye Ssentebe w’Olukiiko lw’abatandisi b’amasomero ga Stena, agamba nti baalonze omulamwa ogwo okusobola okuzuukusa abazadde ate n’okumanyisa abaana obukulu bw’obuwangwa.
Mu ngeri y’emu agamba nti amasomero ga Stena ‘Nusery’ ne ‘Secondary’ gafaayo nnyo okutumbula ebitone by’abaana kyokka ne mu kusomesa eby’omukibiina gakola bulungi ddala okusobola okufulumya abantu aboomugaso mu Ggwanga.
Omugenyi omukulu ku mukolo guno Omw. Kalule Stephen era nga yatwala ebyenjigiriza mu ggombolola Makindye mukulu wa Kibuga, asabye abazadde okuyamba ennyo abaana okukuza talanta zaabwe.
Kalule ategeezezza nti edda ng’omuntu ayingira eby’okuyimba oba katemba alabibwa ng’alemereddwa kyokka ensangi kyeyolese lwatu nti abantu bafunira ddala mu talanta zaabwe ne babeera n’ettutumu, Ssente, ekitiibwa n’emiganyulo emirala.
Ono annyonnyodde nti kikulu nnyo abaana nga bali mu ssomero baleme kukoma ku byamukibiina byokka wabula bakwatibweko n’okukuza talanta zaabwe era yebazizza Stena Hill SS olw’okukola kino obulungi ne batakoma kuyisa bulungi baana wabula ne babayamba ne ku bitone byabwe.

Bwatyo asabye enteekateeka y’ okuzza empisa mu baana etandikire ku baana abatonga kikolebwa abazadde n’abasomesa n’abantu abalala abalina obuvunaanyizibwa ku baana, babateeketeeke bulungi bafuuke ab’ensonga.
Akuutidde n’abaana obutakoma kwolesa talanta, wabula okujja eky’okuyiga mw’ebyo bye booleseza, ennono n’obuwangwa binywezebwe, Eggwanga lifune abantu ab’ensa.
Ku mukolo guno wabaddewo n’okukwasa abayizi aba Siniya 6 ebyava mu bigezo byabwe, bano batuula abaana 27 era bonna ne bafuna obubonero obubatwala ku Yunivasite nga n’abamu ku baasinga balina obubonero 19 kw’obwo 20 obugabibwa.
Mu mpaka z’okwolesa talanta, abayizi bavuganyiriza mu nnyumba zaabwe nnya (4) ezabbulwa mu zi Ssemazinga okuli; Europe, Africa, America ne Asia. Bano bavuganyiza mu nnyimba, amazina, ebitontome, n’ebiyiiye era gye biggweredde nga ennyumba ya Africa enywedde mu ndala akendo, eddiriddwa Asia, Europe ate yo America n’ekwebera. Abawanguzi baweereddwa ekikopo ne sseddume y’Ente