Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita wa Buganda ow’ensonga z’amateeka era Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika asabye abantu ba Kabaka okwegatta ku bibiina by’obweggasi naddala ebyo ebitandikiddwawo Obwakabaka okusobola okwekulaakulanya.
Bino Owek. Bwanika bino abyogeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga okutikkula Oluwalo okuva mu Bannakyaggwe.
“ Enteekateeka ng’emmwaanyi Terimba mugiwagire nnyo, ebibiina by’obweggasi eby’Obwakabaka nga Ssuubi lyo Zambogo SACCO ne CBS PEWOSA muziwagire tusobole okutereka era tusige tusobole okulaakulana kuba twagala tutuuke ku mutendera ogusobola okufuna bbanka ezaffe,” Owek. Bwanika bw’ ategeezezza ku lwa Katikkiro Mayiga.
Ono era asinzidde wano nasaba abantu bonna okujjumbira enteekateeka ez’enjawulo ezikolebwa Obwakabaka okutumbula embeera zabwe wamu nokulwanyisa obwavu.
Ye Minisita Omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda owek. Joseph Kawuki yeebazizza Bannakyaggwe olw’okufaayo okutuukiriza obuvunanyizibwa kyokka nakubiriza abakulembeze mu gavumenti eyawakati okuloganira wamu n’Obwakabaka okutuusa obuweereza ku bantu.
Abaami b’eggombolola ezikiise embuga nga bakuliddwa mukama wabwe Ssekiboobo Rashid Luswata Kanakulya yeebazizza Obwakabaka olw’enteekateeka ez’enjawulo zebuwaddeyo okulaakulanya abantu.
Eggombolola ezikiise embuga kuliko Mutuba IV Kawuga, Ssaabawaali Buikwe, Ssaabagabo Ngogwe era zino zireese oluwalo oluweza obukadde 30.