
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owek Christopher Bwanika akuutidde abantu ba Beene banyweze obumu era bakolagane bwebaba baagala okulaakulana n’okuzza Buganda ku ntikko.
Okwogera bino, Owek. Bwanika asinzidde Bulange e Mmengo ku Lwokuna ng’ atikkula oluwalo olusobye mu bukadde 37 okuva mu Ggombolola ya Mutuba Vii Kawolo, Mumyuka Maanyi, Ssaabaddu Malanga, Ssaabagabo Kakindu ne Ssaabawali Butayunja.
Bwanika agamba nti Obuganda tebulina kukkiriza muntu yenna kubwawulamu kubanga bangi babeera bayisaaawo byabwe.
Bano era abakubiriza okugoberera ennambika ne n’enteekateeka zonna ez’Obwakabaka okugussa olutabaalo olw’okuza Buganda ku ntikko.
Ono era asabye abazadde okukuza obulungi abaana basobole okuvaamu abavubuka Beene beyasiima n’akwasa omulembe gwe. Abakuutidde okwekuuma ekirwadde kya Mukenenya era bayambeko okuggusa ekiruubirirwa ky’Omutanda eky’okumalawo ekirwadde kino omwaka 2030 wegunaatuukira.

Ssaabawolereza agumizza Obuganda ku nsonga z’ettaka ly’embuga nategeeza nga bwebawuliziganya obulungi ne Ssaabawolereza mu gavumenti eyawakati, ng’ensonga zino zonna zakugonjoolwa.
Kulwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Minisita Chotilda Nakate Kikomeko, yeebaziiza abantu ba Beene abakiise embuga naabasaba okufaayo okunyweza Nnamulondo mu mbeera yonna esoboka.
Ye Omwami w’essaza Busujju, Israel Lubega Maaso Kasujju yeebazizza Beene olw’enteekateeka ya Mmwanyi Terimba gyagamba nti eyambye nnyo okutumbula embeera z’ebyefuna mu Bannabusujju nasuubiza nti abantu ba Nnyimu eludda eyo bakwongera okugoberera enambika zonna ez’obwakabaka,
Ensisinkano eno yetabiddwamu abantu ebenjawulo okubadde bannabyabufuzi, abaana b’amasomero, abakulembeze mu ddiini, Kasujju omuwumuze Mark Jingo Kaberenge Byekwaso n’abantu abalala bangi.









