Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, atongozza boodi ya Yinsuwa ya Buganda eya Werinde Insurance Services Limited e Bulange Mmengo.
Boodi etongozeddwa ku Lwokuna egenda kukulirwa Ssentebe Dr. Evelyn Nabakka Kigozi, amyukibwa Omw. Sam Ntulume, Omw. Badru Ntege, Omuky. Alice Ddamulira, Omw. Ronnie Mutebi, Omw. Simon Ssekankya n’Omw. Eria Kabiswa Zizinga
Kaawaase yasabye abalondeddwa okutegeera obuvunanyizibwa obubawereddwa kubanga Ssaabasajja bwasiima wabeereewo kkampuni erina okuwa abantu obuweereza bwa Yinsuwa tekibeera kitono.
“Tujja kukola ku byaffe okulaba nti bifuna Yinsuwa nga tuyita mu Werinde Insurance Services naye n’ebya bantu nga Hardware World, Ssekanyolya n’ebirala ,” Kaawaase bweyategeezezza.
Kaawaase yanyonyodde nga bwebagenda okusaba omukisa okubeera abamu kwabo abakubwamu ttooci okugaba obuweereza bwa Yinsuwa eri bbanka ez’enjawulo.
Minisita wa Buganda ow’ebyensimbi Oweek. Waggwa Nsibirwa bweyabadde ayanjula boodi eno yategeezezza nga abantu bonna abalondeddwa bwebalina obukugu mu bintu ebyenjawulo era nga bagenda kuyamba okukyusa ekifananyi kya Yinsuwa mu ggwanga.
Ate ye Ssentebe omulonde Dr. Evelyn Nabakka, yeebazizza Beene olw’okubalondayo bakulire kkampuni eno era nakakasa nga okulondebwa kwabwe bwetabadde nsobi.
Yasuubizza okukola ennyo basukkulume ku kkampuni endala eza Yinsuwa mu Uganda kubanga obusobozi babulina.