
Musasi waffe
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza akakiiko akagenda okutegeka amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’omulundi ogwa 65.
Akakiiko kano kakulirwa Oweek. Daudi Mpanga minisita w’Emirimu egy’enkizo e Mmengo nga wa kumyukibwa Oweek. Joseph Kawuki, minisita akola ku gavumenti z’ebitundu, n’okulambula kwa Kabaka.
Akakiiko era kaliko ne Kaggo, Omwami ow’Esazza ly’eKyadondo Agnes Nakibirige Ssempa. Bwabadde akatongoza mu Bulange e Mengo, Oweek. Mayiga agambye nti Obwakabaka bwebuyamba abantu okutegeera kiki kye bali nti era balina ebyafaayo n’ennono bye bagoberera. “Tukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka kubanga Kabaka ke kabonero k’eby’obusika bwaffe,” Mayiga bwagambye.
“Abasajja bebatandiikiriza ebireeta mukenenya. Mwe mugabira abakazi ssente. Mubizinga ebimu enjawulo eri wakati w’okulwalala siriimu n’obulamu Shs 5000, naye omusajja yagamba omukazi gwaguze nti nze saagala kapiira nina omutwalo. N’olwekyo mwe abasajja mwemulina okulaba nti omukazi talwala,” Mayiga bwagambye.
Amazaalibwa gw’omulundi guno agali beerawo nga Apuli 13 gaakutandika n’okusaba ku Lutikko e Lubaga. Nga Apuli 5, wajja kubaawo emisinde mubuna byalo egitegekebwa okukuza amazaalibwa gano.