
Bya Musasi waffe
Omukulembeze wa Democratic Republic of Congo (DRC) agambye ayagala kukyusa ebintu eggwangalye lirekere awo okumanyibwa lwantalo. Okwogera bino Felix Antoine Tshisekedi Tshilombo yabadde asisinkanyemu munne owa Uganda Yoweri Museveni mumakage Entebbe kubugenyi obwennaku ebbiri. “Neegomba emmannya gy’omanyiimu ebyafaayo bye kitundu kino. Kyov’olaba twakkiriziganya okutandika okukolagana mu by’obussubuzi mukifo ky’entalo. Ndi mukwebuuza kubantu kukiki kyetulina okukola okuva muntalo,” Tshisekedi bweyategeezezza.

Mukwogerakwe, Museveni yagambye nti musanyufu olw’okubanga ensalo ezaawula amawanga ga Africa azateekebwawo abazungu kati zigenda zigyibwawo olw’enkolagana yamawanga gano. “Abantu ba Uganda ne Congo bebamu era balina ebyafaayo ebifanagana,”Museveni bweyagambye.