Bya Gladys Nanyombi
Kireka
Omuvuzi wa Bodaboda omulala yeeyokedde ku poliisi e Kireka oluvanyuma lw’okubanja abapoliisi Ppikipiki nebeerema okugiwa nga baagala asooke abawe ssente.
Emmanuel Kabanda ow’emyaka 24, yagenze ku poliisi ye Kireka ku Ssande nga ayagala ateeseganye nakulira poliisi eno Edward Mulinde amuddize Ppikipiki ye nnamba UDU 610H gyeyabadde akutte wabula nagaana.
Okusinziira ku kiwandiiko poliisi kyefulumizza, poliisi Pikipiki eno yagikwatidde wamu n’endala 10 mu kikwekweto kyebakoze ku Ssande ekiro olw’ okujeemera ebiragiro bya COVID-19.
Era Kabanda nebamulagira okudda leero ku Mmande asobole okugifuna.
Wabula ono yakomyewo ku ssaawa ssatu n’ekitundu ez’ekiro era bagenze okumulengera nga yeekumyeko omuliro mu luggya lwa poliisi nga alaajana bamuyambe.
Wano poliisi n’abamu ku bantu ababadde okumpi badduse nebamuyiwako amazzi era naddusibwa mu ddwaliro e Kiruddu okusobola okufuna obujjanjabi.
Omu ku b’oluganda lwa Kabanda, Onumu Lawrence yawakkanyiza ebya poliisi nagamba nti Pikipiki ya Kabanda emaze ennaku ssatu nga ekwatiddwa poliisi era nga abadde anoonya ssente Mulinde zebamusaba.
Ono agamba ssente zagaanye okuwera , Kabanda kwekusalawo amutwalire emitwalo ettaano gyeyafunyeko wabula nazigaana.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano Luke Owoyesigire yategeezezza Gambuuze nti, bamaze dda okufuna; akacupa Kabanda mweyagulidde amafuta, essaati ye eyayidde n’engatto ze nebitwalibwa mu Keberero lya gavumenti.
Owoyesigire yategeezezza nti ono olumala okuwona agenda kusimbibwa mu kkooti avunaanibwe omusango gw’okwagala okweggya mu budde.
Ku nsonga eno, Ssentebe w’abavuzi ba Bodaboda mu Kira Buziba Bosco, yategeezezza nti poliisi esusse okubanyigiriza mu mbeera eno eya Corona nasaba poliisi ekolagane n’abakulira ababodaboda ku siteegi ezenjawulo kiyambeko okukendeeza ebikolwa nga bino.
Kinajjukirwa nti, guno ssi gwe murundi ogusoose owa bodaboda okukola ekikolwa kino nga emabegako omuvubuka Hussein Walugembe yeeyokera ku poliisi e Masaka naafa oluvanyuma lwa poliisi okugaanira Pikipiki ye.