Bya Ssemakula John
Bukomansimbi
Ekikangabwa kigudde e Bukomansimbi ku ssomero lya St. Jude Thaddeus Primary School oluvannyuma lw’ omuyizi wa P7 okwetugira mu kizimbe omuterekebwa ebitabo.
Ensonga eyavuddeko omwana ono, Paulo Luyimbazi ow’emyaka 15 okwetuga olunaku lweggulo tenamanyika wadde nga poliisi eriko abasomesa beekutte bagiyambeko mu kunoonyereza ku nsonga eno.
Omulambo gwa Luyimbazi gutwaliddwa ku ddwaliro lya Masaka Regional Referral Hospital okwongera okwekebejjebwa.
Ab’enganda za Luyimbazi eggulo balumiriza abasomesa okutulugunya ennyo omwana wabwe natuuka okwetamwa ensi wadde nga bino tebyasobodde kakasibwa batwala ssomero lino.
“ Essomero lino ligaba ebibonerezo ebyamaanyi eri abaana. Omwana bamukuba batya embooko 80?” Omu ku booluganda bweyagambye.
Wabula ababaddewo ku ssomero bagamba nti, Luyimbazi aliko emisango gyeyakoze naye bwebamugambye okugenda ewa Heedimasita yagenze mu kkuumiro lya bitabo ekyazeeko kuwulira nti yeetuze.
Mmeeya wa Ttawuni kkanso ye Bukomansimbi, Christopher Ssekikubo omu ku basoose k weyeetugidde agamba nti omwana yamusanze ku ttaka nga alina omuguwa mu bulago.
Ye RDC we Bukomansimbi, Jane Frances Kagaayi, asabye abasomesa okukwatagana n’abayizi okwewala ebikolwa nga bino.
Abatwala essomero lino bagaanye okubaako kyeboogera ku nsonga eno.