Bya Ssemakula John
Kampala
Akakiiko k’ebyokulonda kagobye Munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Kasule Moses, mu lwokaano oluvannyuma lw’okumenya amateeka g’ebyokulonda ag’okwewandiisa.
Kino kyasaliddwako akakiiko k’ebyokulonda akagonjoola ensonga n’okwemulugunya, akakulirwa Kamisona Hajjati Aisha Lubega, akategeezezza nti Kasule yasembebwa omuntu atatuula ku lukiiko lw’abavubuka lwonna, ekintu ekimenya amateeka.
Kasule yakozesa erinnya ly’amyuka ssentebe wa Divizoni y’e Nabweru, Emmanuel Kiwuuwa, ng’omu ku baamusemba kyokka nga tali ku lukiiko lw’abavubuka olwa disitulikiti.
Bino we bijjidde ng’okulonda kw’omukiise w’abavubuka omuli n’owa Buganda kwa leero era nga kwaggyiddwa e Masaka gye kwabadde kulina okubeera ne kutwalibwa e Mubende.
Oluvannyuma lwa Kasule okugobwa mu lwokaano, kitegeeza nti abeesimbyewo kati basigadde musanvu nga bano kuliko; Ivan Bwowe, Abdu Ziritwawula, Simon Sennyonga, Alvin Ssemambya, Micheal Katongole, Kasumba Gyaviira ne Agnes Kirabo.
Emitawaana gya Kasule gyatandikira mu ttabamiruka w’abavubuka, Moses Chris Mufaki naye bwe yawaba ng’awakanya eky’ono okukozesa omuntu atakkirizibwa nga yeewandiisa ekintu ekimenya amateeka.
Ekirindiriddwa kwe kulaba ani agenda okulangirirwa ng’omuwanguzi anaakiikirira abavubuka ba Buganda mu Palamenti ey’e 11 ku abo abasigadde mu lwokaano.