
Bya Ssemakula John
Kampala
Omubaka wa Palamenti ow’ekitundu kya Omoro, Jacob Oulanyah, alangiriddwa nga sipiika wa Palamenti y’e 11 oluvannyuma lw’okuwangula akalulu akakubiddwa e Kololo leero ku Mmande.
Oulanyah afunye obululu 310 ate ye munne bwe babadde ku mbiranye era omubaka omukyala owa Kamuli, Rebecca Kadaga n’afuna obululu 197.
Ate omubaka wa munisipaali ye Kira, Ibrahim Ssemujju Nganda akutte kyakusatu n’obululu 15 mu kulonda kuno okubadde ku kubirizibwa Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo era nga ne Pulezidenti Museveni abaddewo nga omukolo gugenda mu maaso.
Oluvannyuma lw’okubala obululu, wabaddewo akavuyo ng’abajaasi abakuuma omukulembeze w’eggwanga okulabibwako mu kifo ababaka we babadde batudde ekiwaliriza omubaka Joseph Ssewungu okusaba Ssaabalamuzi Owiny Dollo okuyingira mu nsonga eno.
“Abange! Abange! Abange!”, Museveni bw’awulikise oluvannyuma n’agamba nti, “Mugenda kutta Sipiika omupya kati olwo ate tugenda kukola ki?”
“Ssaabalamuzi onansonyiwa okweddiza omulimu naye mbadde ngezaako kukola mu kiti kya Minisita w’ebyobulamu.” Museveni bw’ategeezezza.
Mu kulonda kuno Oulanyah abadde ku mbiranye ne munne bwe bava ku kibiina kya NRM, Rebecca Alitwala Kadaga, abadde sipiika wa Palamenti okuva mu 2011 era ng’abadde yeesimbyewo ku kisanja ekyokusatu.
Bino we bijjidde ng’eggulo ku Ssande akakiiko k’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) ak’okuntikko aka CEC kaalonzeewo Oulanyah ne kasuula Rebecca Kadaga eyasazeewo n’ajja ku bwannamungina.
Oluvannyuma Sipiika omulonde, Jacob Oulanyah okulayizibwa atandise okukubiriza okulonda kw’Omumyuka wa Sipiika.
Ku kifo kino, Anita Among avuganyizza n’omubaka wa Kampala Central, Muhammad Nsereko, oluvannyuma lwa Thomas Tayebwa okuva mu lwokaano n’alekera Among.









