Bya Ssemakula John
Kampala
Omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako e Makindye, Sarah Ann Basemera asindise omusuubuzi Francis Onebe ku alimanda mu kkomera e Kitalya lwa kutta mukazi we.
Oluvannyuma lwa mukyala we Immaculate Mary Blessing Asio okubula okumala emyezi 9, omulambo gwe gwasangiddwa mu kinnya kya kazambi mu maka gaabwe e Munyonyo, ekyavuddeko okukwata Onebe.
Ono asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi n’omukuumi we Bonny Oriekot, ne basomerwa emisango egyekuusa ku kutta Asio.
“Francis Onebe 63, ng’oli mubazi wa bitabo, Bonny Oriekot 26, omukuumi mu kkampuni ya Pentagon Security Limited awamu n’abalala abakyanoonyezebwa, mu mwezi gwa January 2021 nga muli e Mawanga mu Munyonyo, divizoni y’e Makindye mu Kampala, mwatemula Asio Immaculate Mary Blessing Onebe.” kkooti bw’etegeezezza.
Bano tebakkiriziddwa kubaako kye boogera kuba omusango gwe bavunaanwa gwa Nnaggomola, oguwulira kkooti enkulu.
Omuwaabi wa gavumenti, Lydia Nakato wano annyonnyodde omulamuzi ng’okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso era nsaba kkooti ebongereyo akadde.
Omulamuzi omusango agwongeddeyo okutuuka nga 30 September lwe gunaddamu okuwulirwa.
Wabula bw’abadde tannasindikibwa Kitalya, Onebe ng’ayita mu munnamateeka we , Moses Ingura asabye kkooti emukkirize afune obujjanjabi obwenjawulo kuba alina ebirwadde ebimuluma ate ng’ebbanga ly’amaze mu kaduukulu abadde tafuna bujjanjabi buno.
Kino omulamuzi akigaanye n’amulagira okujjanjabirwa e Kitalya.