Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Bannayuganda basabiddwa okweyuna omwoleso gwa CBS -PEWOSA Nsindika Njake bafuna amagezi ku ngeri ez’enjawulo gyebasobola okulaakulana n’okwegobako obwavu.
Okusaba kuno kukoleddwa omu ku bakulira Leediyo ya CBS, Male Busuulwa bw’abadde alambulula ku nteekateeka y’Omwoleso guno wali mu Lubiri e Mmengo.
Mw. Busuulwa annyonnyodde nti olunaku olusoose buli kimu kitambudde bukwaku era aboolesa batandise dda ogwabwe nga n’abantu obwedda beyuna emidaala.
Ono akunze bannayuganda okwettanira omwoleso guno basobole okugabana ku magezi.
Bbo abasuubuzi enkoko bagikutte mumwa era bano bafunye emidaala era webukeeredde okugirambula nga buli kimu kiteekeddwateekeddwa bulungi.
Muno mulimu abalimi , ebitongole ebyenjawulo nabantu ssekinoomu
Abamu ku boolesa batutegeeza nti basuubira okugaziya ku katale k’ebyamaguzi byabwe ate nokusomesa abalala bannayuganda basobole okukulaakulanira awamu.
Omwoleso guno gutandise leero ku Lwokusatu nga gugenda kutuukira ddala ku Lwokubiri lwa wiiki ejja.