Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Bannamakolero amanene namatono, bannabibina bya CBS PEWOSA abalimi nabalunzi wamu nabantu kinnoomu batandise okwolesa ebyamaguzi byabwe mu mwoleso gwa CBS PEWOSA Nsindikanjake, oguyindira mu Lubiri e Mengo.
Mulimu okubangula abantu ku by’obulimi, Obulunzi, okutereka n’okusiga ensimbi, Akatale ka Easter, ebyokuzanyisa by’abaana n’ebintu ebirala bingi .
Okusinziira ku bategesi abantu baakufuna omukisa okumanya engeri gyebasobola okwekulaakulanya nga bayiga okugatta omutindo ku bintu eby’enjawulo wamu n’okumanya ensigo entuufu wezirina okusangibwa.
Ebitongole bya Gavumenti ebyenjawulo okuli Uganda Revenue Authority, National Drug Authority n’ebirala nabyo bizze okusomesa abantu ku mpeereza za gavumenti ezitali zimu.
Okuyingira mu mwoleso osasula shs 5000/= nga gugenda kumala wiiki namba, gutandise 27 March guggwa nga 02 April,2024.#