Bya Ssemakula John
Maanyi – Busujju
Abantu ba Buganda mu ssaza Busujju basuze bulindaala okwetaba mu mwoleso gwa Buganda ogw’ebyobulimi n’ebibiina by’obwegassi ogugenda okutandika olunaku lw’enkya ku kitebe ky’e Ggombolola y’e Maanyi.
Omwoleso guno ogugenda okuyindira wansi w’omulamwa ogugamba nti, ‘ Obugagga obuli mu bulimi n’obwegassi’ nga gugenda kumala ennaku 2.
Okusinziira ku Minisita avunaanyizibwa ku by’obulimi , obweggasi, obutonde bwensi ne Bulungibwansi, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, omwoleso guno gugenda kutandika na Kamalabyonna Charles Peter Mayiga okulambula abalimi abafuuse eky’okulabirako mukitundu kino.
Ono era asinzidde wano nasaba abantu mu bitundu ebirilaanyewo okujjumbira omwoleso guno.
Olwa leero Minisita omubeezi ow’ebyobulimi Owek. Hajji Hamis Kakomo asiibye mu Busujju ng’alambula ebifo byonna Katikkiro gy’agenda okuyita ku Lwokusatu bwanaaba aggalawo omwoleso guno era akoowodde abantu ba Kabaka yonna gyebali okuvaayo mu bungi beetabe mu mwoleso guno.
Ye akulira ekitongole ky’ebyobulimi mu Bwakabaka ekya BUCADEFU Omuk. Robert Musenze agamba bakwoleese ebintu eby’enjawulo bannayuganda byebatalabangako era nabasaba okujja mubungi basobole okuyiga engeri gyebasobola okwongera omutindo ku byebakola .
Kinajjukirwa nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka azze akubiriza abantu be okufaayo okulima n’okunyweza obumu munkola y’obweggasi okusobola okutumbula embeera zabwe.