Bya Ssaava Kanyike
Mmengo – Kyaddondo
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Abataka Abakulu b’Obusolya mu Buganda Omutaka Nnamwama Augustine Mutumba Kizito asabye Bannayuganda okukuma obulamu bwabwe obutiribiri mu kiseera kino eky’akalulu kubanga ab’ebyokwerinda bangi balabiddwako nga baggwamu obuntubulamu ne balagajalirira obulamu bwabwe nga eno bwe batyoboola eddembe ly’obuntu.

Omutaka Augustine Mutumba okwogera bino abadde mu Lubiri e Mengo mu kuggalawo omwaka gw’amakula mu Lubiri e Mmengo era wano Nnamwama w’asabidde abakuumaddembe okufaayo ennyo okusoosowaza enkola ey’obuntubulamu mu kalulu kano kuba ebikolwa bino biswaza nnyo eggwanga.
Namwama agamba nti wano nga Uganda bwe yakoppa ensonga y’okulonda obukulembeze ku nsi ezaakulaakulana, kisaanidde bakoppe n’enkola yaabwe ey’obuntubulamu obuleetawo eeddembe mu nsi zino, nti newankubadde zirina ebyokulwanyisa naye tebamala gabiggyayo mu bantu.
Ye Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka Moses Luutu asabye ensonga z’ebyokulonda obutabaawo azitwala nga eky’okuzannya era wano asabye abantu ba Kabaka okulonda abakulembeze ab’ensa abasobola okujja Buganda weeri okujongera mu maaso.Ono
Ono asabye waleme kubaawo muzannyo mu kulonda era asabye Gavumenti ewe abantu eddembe okulonda wamu n’okuwuliriza abantu abalina emiramwa, akubirizza abantu beewale okucamuukirira kuba emyaka 5 mingi nnyo nga eggwanga baliwaddeyo nga bazanyirira.
Abaleese Amakula nga bakulembeddwamu Omumyuka wa Katikkiro w’Ekika ky’e Mmamba Denis Bugaya bagamba nti okutonera Kabaka amakula nga bwe kiri eky’ennono bakikola mu kwagala era bakkiriza nti kino kizza emikisa gye bali.

Abantu ba kabaka okuva mu Ggombolola ez’enjawulo okuli Mutuba III Bukomero, Mumyuka Nakawa, Musaale Kangulumira n’endala be bakiise embuga mu Lubiri e Mengo okutonera Kabaka amakula ag’enjawulo nga mu gano mubaddemu emmere, amagi, ente n’ebintu ebirala.
Omukolo guno gwetabiddwako abamu ku bannabyabufuuzi abesimbyewo ku bifo ebyenjawulo nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kiboga Nakimwero Christine Kaaya, eyegwanyiza ekifo ky’omubaka wa Nakawa East; Wilfred Nakandi era bano batenderezza enkola eno ey’amakula mu Buganda, nga bagamba kabonero kalungi akalaga nti omukulembeze yenna alina okuba ng’ayagalwa abantu baakulembera, ng’abawuliriza nga nabo olwo bamuwuliriza.
Eggombolola esinze okuwaayo amakula omwaka guno ye ya Mukulu wa Kibuga, eddiriddwa Ssaabaddu Kira nga gano gombi gakwasiddwa ebirabo ebyenjawulo ebigasiima .








