Bya Gerald Mulindwa
Bulange – Mmengo
Omuyimbi Carol Nantongo akiise embuga naasisinkana Kamalabyonna Charles Peter Mayiga okumwanjulira ku nteekateeka z’ekivvulu ky’alina ku Lwokutaano luno.
Ensisinkano ebadde mu Bulange e Mmengo ku Mmande era nga Nantongo awerekeddwako ‘Manager’ we Ssentalo Yuda awamu n’abantu abalala.
Bw’abadde ayogerako gyebali, Katikkiro Mayiga agambye nti omuyimbi bwatuuka ku mutendera ogukola ekivvulu nga Carol Nantongo bwatuuse ku ssa eryo, kitegeeza nti akuze mu kisaawe ky’okuyimba, afunye amaanyi agasobola okuleeta abawagizi wamu n’okusikiriza abategesi b’e bivvulu.
Owek. Mayiga amwebazizza olw’okutambuza omulimu ogwo okugutuusa wegwesiimisa ate mu kitiibwa, newankubadde ayise mu bintu bingi okutuuka okukola ekivvulu, olugero lwa “ebirungi biva mu ntuuyo” lumutuukirako kubanga omuntu yenna atayagala kutuuyana ebirungi alina kubivaako.
Asabye abantu obutakoowa kutegana nakusomoozebwa naye bannyikize kyebakola olwo bafuuke abamaanyi.
Katikkiro Mayiga ayogedde ku Nantongo ng’omuntu alina empisa, eyeewa ekitibwa bwatyo naasaba bannayuganda okumuwagira ku Hotel Africana ku lwokutaano luno nga 6th December kubanga agwanidde.
Akiikiridde Minisita w’ Abavubuka, Ebyemizannyo n’Ebitone, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, amusabye afuge ettutumu lyafunye nti bangi bagudde ekigwo lwa kukozesa bubi ttutumu lyebaafuna.
Ku lulwe Carol Nantongo yeebazizza nnyo Kamalabyonna Mayiga wamu n’obwakabaka okutwaliza awamu olw’obuwagizi mu ngeri ez’enjawulo naddala mu kusoosowaza ennyimba ze mu mikolo gy’Obwakabaka n’enteekateeka endala.
Nantongo aweze okuwa abawagizi be akawungeezi akalungi ku lunaku olwo nga abayimbira obuyimba bwe bwonna era wano abasabye okumuwagira ku kivvulu kino.