
Musasi waffe
Okusinziira ku kunonyereza okwakworebwa aba Greater Virunga Transboundary Collaboration, Omuwendo gw’ebisodde mu Uganda gweyongedde. Okunonyereza kwalaze nti mu kkuuumiro ly’ebisolo erya Bwindi- Sarambwe, mulimu ebisodde 459 ngate munsi yonna mulimu 1063. Kino kitegeeza nti Uganda yesingamu ebisodde mu nsi yonna. Ebisigadde 604 bigabanwa wakati wa Uganda, Rwanda ne Democratic Republic of Congo. Ng’alangirira ebyava mu kubala kuno, minisita avunanyibwa ku Bulambuzi, pulofeesa Ephraim Kamuntu yategeezezza nti omuwendo guno okweyongera kivudde ku mulimu gavumenti ya NRM gwekoze mukuleetawo obutebenkevu mu ggwanga lyonna. “Bisodde byokka sibyebyeyongedde wabula n’ensolo endala zonna okwetooloola eggwanga. Kino kivuddemu obukuubagano wakati w’ensolo wamu n’abantu kuba n’abo beyongedde ng’ate ettaka ddyo teryeyongera,” Kamuntu bweyategeezezza. Yasabye amawanga amalala okuwagira Uganda mu lutalo lweriko olw’okukuuma obutonde n’ategeeza nti ensolo nga zino tezigasa Uganda yokka wabula n’amawanga amalala. “Tulina okukwatira awamu okulaba nga tukuuma obutonde bw’ensi kuba butugasiza wamu,” Ebisodde kyekimu kubisinga okuleeta abalambuzi mu Uganda nga era omugwira okuweebwa olukusa okubirambula alina okusausla ddoola 600.