Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ki Uganda National Examination Board (UNEB) kitegeezezza nti omuwendo gw’abayizi abagenda okutuula ebigezo ebyakamalirizo eby’omwaka guno bwegweyongedde bwogeraageranya naabo abatuula omwaka oguwedde.
Ssenkulu w’ekitongole ki UNEB, Daniel N Odongo ategeezezza nti omuwendo gwa bano gulinnye okuva ku 1,224,371 negudda ku 1,320,400. Ebitundu 51.1% ku bano bawala ate nga abalenzi bakola ebitundu 48.9%.
Ekitongole kino era kifulumizza ennaku abayizi ku mitendera egy’enjawulo kwebagenda okutuulira ebibuuzo nga abayizi aba P.7 abawerera ddala 749,371 nga bano bakutandika nga 4 Novemba okutuuka nga 7 Novemba 2024.
Abayizi ba Siniya ey’okuna bali 475000 nga bano bakutandika nga 11 October okutuuka nga 15, Novemba, 2024. Bbo aba Siniya ey’omukaaga (S.6) bawera 14,2017 bakutandika nga 8 Novemba okutuuka nga 6 Desemba.