Bya Kanaakulya Peter

Okusinziira ku bibalo ebikyasembyeyo, abantu mu ggwanga lya South Africa kaakati bakunukkiriza kuwera bukadde 60.
Ebibalo byalaze nti waliwo okweyongeramu kw’abantu 1,890,000 mu myaka ebiri gyokka.
Abakazi bebakyasinze obungi era nga batwala ebitundu 51.1 ku buli kikumi, nga bano bali obukadde 30.5.
Okunoonyereza okwakoledwa, kwalaze nti essaza lya Gauteng lyerikyasinzeemu abantu abangi nga bano bali obukadde 15.5 nga byebitundu 26ku buli kikumi, ku bungi bwa bantu mu gawanga lya South Africa.
Essaza lya Gauteng liddirirwa essaza lya Kwazulu-Natal nga liteeberezebwa okuba n’abantu obukadde 18.5 nga bino bye bitundu 19.3 ku buli kikumi.
Ate ddyo, essaza lya Northern Cape lyerisinga okuba n’abantu abatono nga bali 1.290,000 by’ebitundu 2.2 ku buli kikumi.








