Bya Noah Kintu
Ssembabule
Omuwagizi wa munnabyabufuzi e Mawogola, Sodo Aine Kaguta ng’ono muganda wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yakubiddwa essasi mu kugulu n’addusibwa mu ddwaliro ng’apooca n’ebisago.

Eyakubiddwa essasi ye Hannington Kasheiza ow’emyaka 28 nga mutuuze w’e Lugusuulu mu Ssembabule era nga kigambibwa nti ono yakubiddwa Ninsiima Robert gwe yabadde naye mu bbaala ya Mercy nga banywamu.
Okusinziira ku beerabiddeko, zaabadde ssaawa nga ttaano ez’ekiro bano ne batandika okukaayana ku by’obufuzi wakati w’abantu bano abaabadde mu bbaala era nga nannyini bbaala, poliisi yamukutte dda agiyambeko mu kunoonyereza.
Kino kiwalirizza abawagizi ba Sodo mu kitundu kino ekya Mawogola North, George William, Tumuzigu enock, Namale Gorret, Robert Tumuhairwe n’abalala, okutuuza olukiiko lwa bannamawulire ne bavumirira effujjo eribakolebwako ne basaba Pulezidenti Museveni ayingire mu nsonga eno.
Bano bategeezezza nti bawadde poliisi nsalessale wa nnaku 2 okubaawo ekikolebwa kubanga balina obukakafu bw’abantu baabwe abazze batulugunyizibwa oba si ekyo bagenda kwekalakaasa.
Owooluganda lwa Kasheiza, Mesach Katana annyonnyodde nti mu kiseera kino basobeddwa kubanga ne muganda waabwe eyakubiddwa essasi tebamanyi w’ali kubanga yabuziddwawo.
Aba kkampu ya Sodo bagamba nti bazze batiisibwatiisibwa era kati bali mu kutya nga tebamanyi kiddako.
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Ssembabule, Tindyebwa Peter, yakakasizza okukubwa kw’omuntu essasi wabula n’ategeeza ng’ensonga eno bw’etabaddemu byabufuzi newankubadde babadde babinyumyako.
Tindyebwa yagambye nti bano bubakeeredde kubanga essaawa ze baalwaniddemu zaabadde za Kafyu era n’ategeeza nti baliko be bakutte era ng’oluvannyuma lw’okunoonyereza bagenda kutwalibwa mu kkooti babitebye.








