• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omuvubuka Asobola atya okukuuma obutondebwensi ate ng’afunamu?

Gambuuze by Gambuuze
February 5, 2026
in Amawulire
0 0
0
Omuvubuka Asobola atya okukuuma obutondebwensi ate ng’afunamu?
0
SHARES
35
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Okubangula abavubuka mu kukuuma obutondebwensi nga essira balisa mu kusimba emiti kukute olunaku olwokubiri nga aba United Nations Development Programmes ‘UNDP’ wamu n’Obwakabaka be bavujjiridde omusomo guno okulaba nga abavubuka bafuuka omumuli mu kutaasa obutondebwensi nga omusomo guno gutojjera ku Bulange e Mmengo.

Omukwanaganya w’obutondebwensi, Teddy Nabakooza Galiwango annyonnyodde nti omwaka guno bateekateeka okuguggulawo ne ekiruubirirwa nnamba 12 mu Nnamutayiika w’Obwakabaka nga buluubirira okulaba nga buzzaawo n’okukuuma obutondebwensi kiyite obugagga obw’ensibo kale nga omusomo guno esira liggusa ku kkatala ly’okusimba emiti wamu n’okuzzaawo ebibira, enteekateeka era ezingiramu omulimu gwe kibira kya Kabaka.

“Abavubuka bano tubatendese ku biki ebikolebwa mu ggwanga okuva ku buli kitongole nga ebya gavumenti, Obwakabaka wamu n’ebitongole by’obwannakyewa okulaba nti ebibira biddizibwawo kale nabo basobole okwenyigira mu nteekateeka ezo, ne tubayigiriza n’amateeka ag’enjawulo kuba tulina amateeka wamu n’ebbago ku kusimba emiti mu Uganda, ebbago ku bika bya miti ki era bisimbibwa wa kale ebyo byonna tubibayisizaamu babiteegere” Galiwango bwanyonyodde ku bukulu bw’omusomo guno eri abavubuka.

Nassali Aminah akulira entambuza y’amawulire mu UNDP wansi wa pulojekiti Youth Bio-divesity on Climate Change alaze nti ttiimu ye erafuubana okulaba nga abavubuka bafuna okumanyisibwa ku buli kalonda yenna akwatagana ku miti okuli; enkuza y’emiti ennungi, okujja ensimbi mu miti (carbon market), okukozesa amaanyi g’enjuba nga bakola emirimu gyabwe emirala era ono alaze nti abavubuka be batendese basuubirwa okwongerayo amagezi gano mu masaza gaabwe olwo basse mu nkola ebibasomeseddwa.

Ssentebe w’ekibiina Nkobazambogo Moses Ssemujju Mwanje ng’omu ku batendekebwa ategeezezza nga bw’agenda okufuuka omubaka mu ggwanga alwanirira eddembe ly’emiti kyokka n’okwongera okubunyisa engeri y’okukuuma ebibira.

Ye Mutaasa Micheal Lubega ono mwogezi wa Nkobazambogo mu ggwanga alaze nti oluvannyuma lw’okufuna okubangulwa ku mugaso gw’obutondebwensi wakwongera okusaasanya engeri y’okubutaasa naddala mu bayizi ba Nkobazambogo. Ategeezezza nti akizudde nti abantu bateekwa kuba mikwano gya butonde so ssi balabe baabwo. Kino kye kiyamba okubukuuma.

Namwanje Shirat naye omu ku batendekebwa alaze nti ye omusomo guno gumuyambe okumanya ensimba y’emiti entuufu naddala eyo egisobozesa okukula kale nga wakiri bavubuka banne ku kyalo gy’awangaalira yeyamye okuddayo okubayigiriza okugisimba.

Omusomo guno gwakufundikirwa olunaku olw’enkya nga abavubuka basomesebwa ku katale k’omukka ogutwalibwa emiti na ngeri ki bbo gye bayinza okwenogera ensimbi nga basimba emiti.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.