Bya URN
Omuti gwa kaluttunsi ogwakula negowola gugudde wakati mu kkubo wakati wa Banda ne Kyambogo ku luguudo olumanyiddwa nga Jinja Road negusannyalaza eby’entambula. Omuti guno ogugudde ku ssaawa nga mukaaga ez’emisana guviiriddeko akalippagano k’ebidduka akaamaanyi . Omu keebeerabiddeko naagage, Kintu Kiryoowa ategeezezza URN nti omuti ogugudde gwokka gukubye emmotoka ekika kya Corona ebadde evugibwa omusajja. Kigambibwa nti ono aggyiddwamu nga awunze era naddusibwa mu ddwaliro. Poliisi ekola ku muliro ng’eri wamu n’abasirikale okuva ku poliisi ya Jinja Road ne Banda bagezaako kuguggya mu kkubo.