
Bya Ssemakula John
Wankulukuku – Busiro
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nalabikako eri Obuganda bw’abadde aggulawo empaka z’Ebika bya Buganda 2023 ku kisaawe e Wankulukuku ng’Enkima esamba Engabi Ensamba wakati mu mizira n’enduulu okuva mu bantu be.
Omutanda abadde awerekeddwako Omulangira Richard Ssemakookiro, ku kisaawe atuuse ku ssaawa nga zigenda okuwera 9 ez’olweggulo era ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, minisita w’ebyemizannyo Owek. Henry Ssekabembe Kiberu awamu n’abakungu be abalala.
Omuteregga asoose okulambula ttiimu z’abakyala ezasoose okuzannya nga muguno Enkima yawangudde Engabi Ensamba ku bubonero 43- 30.
Oluvannyuma Omutanda asiimye nateeka omukono gwe ku mupiira ogubadde gulina okuzannyibwa ttiimu zombi ng’ akabonero akaggulawo empaka zino.

Wano Nnyinimu alambudde ennyiriri z’abazannyi zombi okuli Enkima n’Engabi Ensamba era nalambula naawuubira ku bantu be ababadde bakwatiridde ku katimba okwelabira ku Mpologoma.
Omutanda olumaze okudda ku Nnamulondo olwo Ddiifiri Richard Kimbowa naguggyako akawuuwo wakati mu ttiimu zombi okweraga essajja.
Ttiimu y’Engabi esamba yesoose okulengera akatimba ng’eyita mu muzannyo Vianney Ssekajugo era wayise eddakiika ntono omusambi y’omu nabongera ggoolo nga Enkima teyenyeenya.
Omupiira gugenze okuwummula ekitundu ekisooka nga guli ggoolo 2-0. Mu kitundu eky’okubiri Enkima efunye ggoolo yaayo esoose ng’ebadde ya peneti era nga eteebeddwa omuzannyi Moses Kiggundu.
Omuzannyo guno gubadde gunaatera okuggwa, omuzannyi w’Engabi Kamoga Ivan nakuba Enkima awabi negufuuka 3-1 era bwegutyo bweguwedde.

Kino kitegeeza nti ttiimu y’Engabi Ensamba eyiseewo okugenda ku luzannya oluddako ate ng’ Enkima yakudda mu bibinja eyongere okutangaaza emikisa gyaayo.
Omupiira guno gwetabiddwako Abataka abakulu Ab’Obusolya, Bakatikkiro abawummula, Abamyuka bakatikkiro, baminisita ba Kabaka, abakungu, ababaka ba Palamenti awamu n’abantu abalala.
