Bya Ssemakula John
Lubya – Kyaddondo
Omutaka Kasujju Lubinga, Abdul Migadde avuddeyo natangaaza ku baana ab’enjawulo abakulira mu Lubiri lwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Okutangaaza akutadde mukiwandiiko ekitongole ekiriko omukono ggwe ekifulumye enkya ya leero ku Lwokutaano nga 17/03/2023.
Kino kidiiridde ebibadde bitambuzibwa ku mutimbagano nemu mawulire nga byogera ku baana abawandikibwako mukitabo kya Maaama Nnaabagereka.
Omutaka Lubinga agamba nti kino kireetedde Omutaka Mugema, Nabikande, Abataka ab’Obusolya wamu n’abantu ab’enjawulo abavunaanyizibwa ku buzaale bw’abaana ba Kabaka okumutuukirira ku nsonga eno y’emu.
“Mu Nnono n’Obulombolombo Kabaka oba bakyala be bayinza okulera n’okwola abaana bebalinako Oluganda oba be batalinako singa Ssaabasajja Kabaka aba asiimye,” Omutaka Kasujju bw’ategeezezza mu kiwandiiko.
Kasujju Lubinga agattako nti abaana ab’engeri eno babeera basobola bulungi okuyita Kabaka kitaabwe ne bakyala be ba maama wabula tebasobola kuyita Kabaka ‘Mugema waabwe’ kuba tebabeera balangira wadde abambejja singa babeera baabuwala.
Ono annyonnyodde nti bano tebasobola kukolebwako mikolo gya nnono egikolebwa ku baana ba Kabaka era tebasobola kwanjulirwa Buganda nakakasa nti mukiseera kino mu Lubiri waliyo abaana ab’engeri eno abawerako.
ku nsonga ya Beene okufuna Abalongo, Kasujju Lubinga agamba nti okufananako n’abaganda abalala singa Kabaka azaala Abalongo, waliwo emikolo egimanyiddwa egikolebwa mu Buganda era nagino Nnyinimu tagikolangako.
Omutaka Kasujju Lubinga akakasizza nti mu byafaayo bya Buganda, Kabaka akyasembyeyo okuzaala Abalongo ng’ ali ku Nnamulondo ye Ssekabaka Daudi Chwa eyazaala Abalongo okuli Kalemera (Wasswa) ne Kiggala (Kato) era kino kyaliwo mu 1925.