Musasi waffe
Omutaka Kasujja, abadde akulira ekika ky’Engeye Muhmood Minge Kibirige, olwaleero aterekeddwa ku butaka bw’ekika e Busujja mu ggombolola y’e Kakiri mu ssaza ly’e Busiro mu disitulikiti y’e Wakiso
Minge abadde omutuuze w’okukyalo Buwaate mu ggombolola y’e Kira mu Kyaddondo nga yasirittuka ku bbalaza ya wiiki eno.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, aweerezza obubakabwe obw’okusaasira ab’ekika ky’Engeye olw’okuviibwako omutaka waabwe.
Ono newankubadde nga abadde musiraamu, aziikiddwa mu nkola ya buwangwa.
Aziingiddwa mu mbogo 127 era nassibwa muntaana ya fuuti 15.
Owoomutuba gwa Buwembo mu kika kino, Omutaka Nkali Kibirige Ssebunya ategeezezza nti ng’omutaka, kibadde kigwanidde okumutereka mu nkola yeyini egwana era eggya mu kitiibwakye.
Ate ye Katikkiro w’ekika ky’Enseenene Asanasio Kajubi Mujabi omu kubakuliddemu enteekateeka z’okuziika ategeezezza nti eddiini teyajja kudibya byabuwangwa.
“Tewali kukoonagana yadde mu buwangwa n’eddiini. Nga bajjajja abakulu b’ebika twatuula netukkanya nti buli mutaka anaaseereranga, wakuterekebwanga bwati,” Mujabi bwategeezezza.
Olw’embeera y’ekirwadde kya coronavirus, abantu baalubatu bebakkiriziddwa mu kuziika kuno.