
Bya Ssemakula John
Muyenga – Kyaddondo
Omutaka w’ekika ky’Engeye, Kasujja Kyesimba VIII Sheba Kakande asabye abazzukulu bulijjo okutambulira ku nnono bweba baagala okulaakulanya ebika byabwe.
Okusaba kuno Jjaja Kasujja Kyesimba akukoledde Muyengaku Hotel International ku Lwomukaaga bw’abadde alayiza olukiiko lw’Ekika oluggya olugenda okumuyambako okutambuza emirimu.
Omutaka Kakande era asabye abazzukulu okwewala entalo mu kika kuba zino zigendereddwamu okusanyaawo obumu bwebalina so nga era zibalemesa okulaakulana kuba zitwala obudde bung inga tewali kyamanyi kitambula.
Jjaja Kyesimba obukulembeze buno era yabwongeddeko omwaka mulamba okuva ku myaka 4 okudda ku myaka 5 okusobola okunnyikiza obulungi obuweereza.

Mu bakulembeze abaggya abakubye ebirayiro kuliko; Katikkiro w’ekika. Ssebunya Katuluba Bbuno akomyewo ku kifo kya Katikkiro, omumyuka we asooka Samuel Kalule Mawano era akwasiddwa nokukwasaganya gavumenti ezebitundu, Eng. Steven Gwojolonga Musoga ye mumyuka owokubiri owa Katikkiro era nga yagenda okutwala eby’enkulaakulana mu kika.

Bwabadde alayiza olukiiko luno Omutaka yebazizza olukiiko olubaddeko olukulembedde ekisanja eky’emyaka 4 olukoledde wakati mu kusomoozebwa okutali kumu.
Kulwa banne, Katikkiro w’ekika Mark Katuluba Bbuno Ssebunya, agamba nti bagenda kukola ku buli nsonga alabise ng’ekika wakati mu kutereeza engeri ekika gyekirina okutambulamu okusobola okikulaakulanya awamu ne Buganda.









