
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Omutaka akulira ekika ky’Engabi Ennyunga, Jjajja Kanyana Kiwana Daniel asabye abazzukulu okwewaayo bakukulaakulanye ekika kyabwe nga bayita mu kusonda ssente basobole okukola ebyo ebitwala ekika kyabwe mu maaso.
Okusaba kuno Jjajja Kanyana akukoledde ku mukolo gw’okumanyagana ogwategekeddwa okulonderako olukiiko lw’ekika oluggya eggulo ku Ssande nga gwayindidde mu Kampala mu ssaza Kyaddondo.
“Tusisinkanye ne twogera ku nsonga eziyinza okuteeka ekika kyaffe ku ntikko. Bazzukulu mbasaba okwenyigira mu nsonga z’ekika tusobole okukitwala mu maaso era naffe ng’abantu tukulaakulane.” Omutaka Kanyana Kiwana bwe yategeezezza.
Ate ye Katikiro w’ekika kino, Hajji Abbasi Mukyondwa Kabogo agamba nti basanyufu okulaba nga baasisinkanye jjajjaabwe kubanga baagala okulaba ng’amaanyi bagateeka mu kwagazisa abavubuka ekika kyabwe ssaako n’ennono zaabwe kubanga babadde beesuliddeyo Ogwannagamba okumanya ensibuko yaabwe.

Ono yeebazizza abazzukulu olw’ okukung’anya ensimbi ez’okuteekawo ekibumbe ky’ekika kyabwe eky’Engabi Ennyunga nga kati balindiridde kwanja nsimbi zino eri Kamalabyonna Charles Peter Mayiga olwo nabo ekibumbe ky’ekika kyabwe kiteekebwe ku luguudo lwa Kabakanjagala.
Ye eyalondeddwa okubeera omwogezi w’ekika kino era Ssentebe w’abeemiruka mu Masekati ga Kampala, Muyunga Steven, asiimye olw’obwesigwa obwamuteereddwamu era n’asuubiza okutwala obuvunaanyizibwa obwamuweereddwa mu maaso n’asaba abeddira Engabi Ennyunga omukwasizaako.
Akwasaganya ab’Engabi Ennyunga emitala w’amayanja, Ssebyala Yahaya yategeezezza nti wadde balina okusoomoozebwa naye baakwongera okweyambisa omutimbagano okusobola okuwuliziganya ne bannaabwe wamu n’okubabangula ku nsonga z’ekika.
Ensimbi eziwerera ddala obukadde 10 ze zaasondedwa okumaliliza omulimu ogwokuteeka ekibumbe kyabwe nga bwekiri mu nteekateeka y’Obwakabaka.









