Bya Stephen Kulubasi
Masaka
Omusumba w’essaza lye Masaka omuwummuze era omugenzi kati Bisoopu John Baptist Kaggwa alina ekiraamo kyalekedde ensi era nasaba abantu okukinywererako basobole okuwangula.
Obubaka buno bwanjuddwa omusumba Serverus Jjumba mu missa y’okusabira omugenzi ku seminale e Bukalasa mu Masaka, leero ku Lwomukaaga.
“Katonda kwagala, naffe tumwagale ate buli omu ayagale munne. Buli muntu asonyiwe oyo yenna eyamukola obubi,” byebyo ebigambo Omusumba Kaggwa byeyasembye okukuutira abakkiriza.
Okusinziira ku musumba w’essaza lye Masaka Bisoopu Serverus Jjumba obubaka buno kumpi obufuuse ekiraamo yabuwadde omu ku bantu ababadde bagenze okumulaba muddwaliro e Mulago.
Omusumba Jjumba n’abantu bonna aboogedde ku mugenzi batendereza obwetowaze bwe wamu nokubeera omukozi era omuntu abadde ayagala ennyo ekika kye.
Ono ategeezezza nga bwasaaliddwa ennyo okufa kwa Kaggwa kubanga afiiridde mukiseera nga yakamala okukwasibwa obusumba bw’essaza lino era nga yetaaga okuwabulwa.
“omuntu wawansi asembayo, noyo amuddirira , naali mumasekkati, awamu noyo asooka waggulu bonna banyoreddwa olw’okufa kwa musumba Kaggwa olw’engeri ennungi gyabadde yeyisaamu” omusumba Jjumba bw’agambye.
Ekitambiro kya Mmisa ekisiibula omusumba Kaggwa kikulembeddwamu ssentebe w’abeepisikoopi omusumba Anthony Zziwa eyasiimye omugenzi olw’okubeera omukozi ennyo.
Abakungubazi abalala abeetabye ku mukolo guno kubaddeko Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, bannaddiini ab’enjawulo, abakungu bagavumenti, ababaka ba palamenti awamu n’abantu abalala omuli aba ‘Friends of the Bishops’ ekyatandikibwawo mikwano gy’omugenzi.