Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Omusomo ku nnono n’Obuwangwa ogutegekebwa ba Jjajja Abataka gwengedde, gwa lwakutaano luno 24 Mukulukusabitungotungo mu Lubiri e Mmengo.

Olukiiko lw’Abataka Abakulu Ab’Obusolya mu Buganda luteekateeka emisomo ku Nnono nga lugenderera okusibusa, okumanyisa n’okwagazisa abazzukulu ennono, obuwangwa, obulombolombo n’Empisa zaffe Katonda ze yatugerekera wano mu masekkati ga Ssemazinga Africa.
Okufaananako mu bitundu ebirala, ba Jjajja bakizudde nti waliwo obwetaavu bw’okukuuma, okutaasa n’okutumbula ennono n’obuwangwa bwaffe ng’emisingi gy’empisa zaffe ezeekolera erinnya okuva edda n’edda.
Olukiiko oluteesiteesi lw’omusomo guno nga lukulembeddwa Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, lusinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire ku Bulange e Mmengo ne lutegeeza nga enteekateeka bwe ziwedde era omusomo gwa kutandika ssaawa bbiri ez’enkya nga gwa kuggulwawo Ssaabasumba Paul Ssemogerere olwo guggalwewo Ssaabasajja Kabaka n’obubaka bw’anaatikka omuntu gw’anaaba Asiimye.
Omusomo gwa kutambulira ku mulamwa, “Amaka y’emmererezo y’Obuntu”

Okusinziira ku ba Jjajja Abataka, ebigendererwa by’omusomo guno kwe kujjukiza abazzukulu obukulu bw’Amaka mu Buganda, n’okwongera okukiggumiza nti Amaka nsonga ya buwangwa na nnono mu Buganda, ssaako n’okwagazisa, okunyweza, okutebenkeza n’okukulaakulanya Amaka eri abazzukulu. Okwetaba mu musomo guno buli muntu wa kusasula emitwalo ebiri (20k) gyokka.









