Bya Pauline Nanyonjo
Bulange-Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda butegese omusomo ogwenjawulo ku bulwadde bw’enkovu ku mugongo ‘Spina Bifida and Hydrocephalus’ nga endwadde eno tesigibwa wabula omwana azaalibwa nayo nga abantu abali wakati wa 800-1000 be balina endwadde eno mu Uganda naye nga ennamba esinga eri mu bitundu bya Buganda.

Obubonero obulabibwa mu baana bano kuliko okuzimba emitwe olw’amazzi munda, n’obulemu ku bitundu by’omubiri naddala amagulu. Akulira ekitongole kya Spina Bifida & Hydrocephalus Association Uganda Nalugya Ruth alaze nti ekisinga okuvaako obulwadde buno ye maama obutafuna bujjanjabi buluŋŋamu nga ali lubuto, okufuna obuwuka obulwaza ‘Rubela’ mu naku 28 ezisooka nga bakafuna embuto n’ebirala, alaze nti n’abaana abato okufuna infections nga baakazaalibwa nayo nsonga, kyokka omwana bw’azaalibwa n’obulwadde buno ono alaze nti abasawo abakugu basobolera ddala okumulongoosa n’ebamugolola enkizi y’omugongo n’okufunyulula ebigere.
Minisita w’ekikula ky’abantu Mariam Nkalubo Mayanja mu kuggulawo omusomo guno ayabizza ekyama nti ayaayanira nnyo abantu abaliko obulemu okufuna okufiibwako okwenjawulo nga bafuna ensiisira zaabwe ez’abaliko bulemu bokka mwe basomesezebwa ensonga ezitali zimu “Tusaba wakolebwewo ensiisira z’abaliko obulemu bokka nti kale tugenze e Kyaddondo naye olusiisira luno nga lusoosowaza abaliko obulemu kyokka nga n’abantu abalala basobola okujja naye omulaka n’ebikozesebwa nga by’abaliko bulemu nga ebitanda” Minisita bw’asabye.
Owek. Mariam alaze nti waliwo obwetaavu okulowoleza abaliko obulemu nabo beetabe mu mw’ebyo byonna ebikolebwa abantu abalamu “Kyetagisa nnyo okusoosowaza abantu abaliko obulemu okugeza nga minisitule y’abavubuka ekutekerateekera abaliko obulemu olwo abavubuka bano ne batalekebwa mabega, kyokka waliwo n’ebyemizannyo n’okwewummuzzaamu abaliko obulemu bye basobola okwetabamu olwo bawone okusosolebwa naddala mu bavubuka” Minisita Mariam bwagaseko.

Owek. Nkalubo era asabye abantu abaliko obulemu obutesaasiira, bafube okwetaba mu nteekateeka zonna ezikolebwa mu ggwanga, eky’okulabirako abawadde kya kutaasa butondebwansi nga benyigira mu kusimba emiti nga tebeetiirira nti tebalina busobozi na maanyi kusimba miiti ng’abo abaakula obulungi.
Nadongo Ephrance omusomesa w’abaana abaliko obulemu ate nga naye alina ekirwadde kye Nkovu ku Mugongo anyonyodde okusoomooza kwe yayitamu nga tababuddabudibwa nga okwenyamira wakati mu kwogererwa nti baamuloga n’okuvumwa abantu abalamu ekyamuvirako n’okwagala okwetta, kyokka ono azizzaamu abaana n’abantu abawangala n’obulwadde buno amaanyi, obutaterebuka kuba wakyaliyo essuubi n’emikisa egibalindiridde.
Rose Buyinza nga muzadde wa mwana alina obulwadde bwe Nkovu ku mugongo nga mutabani ali mu siniiya ya kutaano kati alaze nti okusoomoza kwatandikira mu kunoonya ssomero likiriza mwana olwe mbeera gyalimu kwosa nabasomesa abatalina bumanyi ku nddwade eno nga omwana bagala kumuyisa nga baana balala ekintu ekitasoboka olw’embeera y’okukozesa akapiira okufulumya omusulo buli kadde akagere. Ono agumiza abazadde abalala nti tebaterebuka kuba abaana bano basobola okukula singa baba bagoberedde ebyo abasawo bye baba babalagidde.
Minisita w’Ebyobulamu mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko yaggaddewo omusomo guno, anyonnyodde nti waliwo obwetaavu okubangula abazadde ku nkuza y’abaana abaliko obulemu “Walina okubeerawo omusomo gw’okuyigiriza abazadde okukuza abaana abenjawulo mukama baba atuwadde n’okwagala kubanga waliwo okusoomooza ku nkuza y’abaana naddala abaliko obulemu ku mulembe guno’ Minisita Nakate.
Owek. Nakate asabye abantu ba Kabaka okweyunira yinsuwa y’Obwakabaka eyayanjulwa gye buvuddeko nga kino lwakiri abantu baakufuna obujjanjabi obusuumuseemu naddala abo ababa bazaalidwa n’endwadde eyo.
Ekitongole ki Spina Bifida & Hydrocephalus Association Uganda (SHA-U) kisinzidde mu musomo guno okulaga obwagazi okukolagana n’Obwakabaka nga bongera okumanyisa abantu ba Kabaka ku ndwadde basobole okugitangira mu ngeri zonna ezisoboka.









