
Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Kkooti ya Kisekwa evunaanyizibwa okusala emisango mu Bika by’Abaganda ewadde ensala ku musango ogukwata ku Kasolya mu Kika ky’Emmamba.
Omutaka James Mubiru Zziikwa V, ono nga ye Gabunga ow’omulundi ogwa 38, kkooti ekakasiza nti ye Gabunga omutuufu era ye musika wa Yosiya Kasozi.
Ensala ya kkooti eraga nti; abawawaabirwa omuli Dr. Adams Kimala n’olukiiko lw’ekika ky’emmamba olukulembeze tebalina musango gwonna gwakolebwa mu kutuuza Omutaka Gabunga owa 37.
Abawaabi okuli; Erusania Ssevviiri Galiwango, Ruth Ndagire, Alex Ndiwalana saako Mirembe Ruth babaddewo mu kkooti, bano baali beemulugunya ku mitendera egyayitibwamu okufuna Gabunga owa 37 eyadda mu bigere bya Gabunga Yosiya Kasozi, bano nga balumiriza nti okuteekako James Mubiru ng’Omutaka ow’a 37 kyakolebwa mu bukyamu, nti si ye y’alina okusika.
Omuk. Dr. Robert Ssonko – Kisekwa yasomye ensala ya kkooti n’ategeeza nti omugenzi Yosiya Kasozi eyali Gabunga owa 36, mu kiraamo kye yalambika bulungi nti James Mubiru ye musika we era nga ye Gabunga eyali alina okusikira akasolya ako. Ono era agambye nti ebisaliddwawo kkooti ya kisekwa si bya kwawula kika wabula okuluŋŋamya n’okugatta ababadde batakiriziganya n’ebimu ku bibadde bigenda maaso mu kika kino.
Katikkiro w’Ekika ky’Emmamba Kyobe Gerald Kaberengeoluvannyuma lw’ensala, agambye nti ab’ekika ky’Emmamba basaanye basigale bumu kubanga bamusaayi gwe gumu, ebyo ebigezaako okubaawula babiteeke ku bbali bazimbe Ekika kigende mu maaso era kikulaakulane.
Omusango guno gututte ebbanga lya myaka egisoba mu 12 nga guwulirizibwa, n’okunonyerezebwako okusobola okutuuka ku kinyusi ky’ensonga n’okumanya ensonga entuufu oluvannyuma ezeesigamiziddwako ensala ewadde oludda oluwawabirirwa obuwanguzi mu musango guno.

Ensala eno eteereddwako emikono omubadde; Omukungu Joshua Kateregga ono ye Kisekwa omuwummuze, Omuk. Lubega Ssebende omuwandiisi wa kkooti, Omuk. Wilson Ssentongo, Omuk. Jamil Ssewanyana, Samuel Walusimbi, George Makumbi, Deogratius Kasozi ne Salim Makeera.