Bya Musasi Waffe
Kampala – Kyaddondo
Ebyenfuna byebikomye okugootana mu ggwanga, abakozi ba gavumenti mu bitongole ebyenjawulo bavuddeyo nebalaga obutali bumativu ssente ezibaweebwa ng’omusaala era wabaddewo ebisuuubizo ebizze bikolebwa gavumenti okusobola okutereeza embeera.
Amawulire okuva mu nsonda ezeesigika galaga nti olukiiko olufuzi olw’ amajje olwa ‘High Command’ olwatudde mu wiiki eno nga lukubirizibwa Pulezidenti Museveni okuteesa ku nsonga y’ abanene abagenda okuwummula amagye wamu n’emisaala gya bajaasi lwakkiriza okwongeza abajaasi omusaala.
Kigambibwa nti Pulezidenti ayagala omujaasi asookerwako afune akakadde ka silingi za Uganda kalamba (1,000,000) okuva ku mitwalo 40 (400,000) wabula tekimanyise mwaka gwa byansimbi ki ssente zino lwezigenda kubaweebwa.
Ensonda zitegeezezza nti Pulezidenti Museveni yeebazizza abajaasi olw’okubeera abagumiikiriza nga wadde bamaze ebbanga ddene nga bafuna ssente ntono naye tebagezangako kwekalakaasa.
Omwogezi w’Amagye, Brig Gen. Felix Kulayigye akkiriza nti olukiiko luno kituufu lwatudde naye nagaana okutangaaza ku byakkiriziganyiziddwako bw’ategeezezza leediyo ya CBS nti ensonga zabadde z’ Amagye nga tezirina wezikwatira ku bannamawulire.
Bino webijjidde nga Pulezidenti Museveni yakamala okulabula abasomesa obutamupapya naye balinde enteekateeka ya gavumenti eyokwongeza omusaala eri abakozi ba gavumenti bonna naye nga etandikira kwabo abalina akakwate ku Saayansi ne Tekinologiya.
Oluvannyuma lw’ensisinkano ya Pulezidenti n’ekibiina ekitaba abasomesa ki UNATU, abasomesa bapondoose nebadda mu bibiina.
Mu ngeri yeemu Minisita w’ Abakozi ba gavumenti, Wilson Muluuli Mukasa naye yasisinkanye abakulira ekibiina ekigatta abakozi ba gavumenti ababadde bategeka okwediima okutandika nólwaleero, nábawooyawooya nti gavumenti egenda kubatereeza.
Bino bibadde bikyali awo ate abakozi ku ssetendekero za gavumenti abatali basomesa nabo nebalangirira nti bateekateeka okwediima lwakulwawo kwongezebwa musaala.