Bya Ssemakula John
Kampala
Omuloodi wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago agamba nti alinze kuwulira Gen. Caleb Akandwanaho amanyiddwa nga Salim Saleh bwamulumiriza ku by’okumuwa ssente awamu n’okukolagana naye kuba tamusisinkangako.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire ku Mmande ategeezezza nti alina okuweewa ku katiibwa kuba y’omu ku bannabyabufuzi abatono abatalina kifananyi kyonna nga ali ne Gen.Saleh, Pulezidenti Museveni oba mutabani wabwe, Muhoozi Kainerugaba.
Okusinziira ku Lukwago kino kiraga nti abadde mwesigwa mu kiseera kyabadde nga Loodimmeeya awamu neweyabeerera omubaka mu Palamenti.
“ Sisinkanangako Gen Saleh wantu wonna mukaseera wemberedde Loodimmeeya oba wenabeerera omubaka wa Palamenti. Sikwatangako mu ngalo za Museveni wadde Muhoozi, bw’oba olina ekifaananyi kyonna oba nga tuli ku muklo gwonna, kireete,” Omuloodi Lukwago bw’agambye.
Kino kiddiridde obubaluwa obugambibwa okuva ewa Gen Salim Saleh okusaasaanira omutimbagano nga bulaga nga bw’abadde awa Lukwago obuyambi, wabula buno yasazeewo okubuyimiriza okutuuka nga Lukwago avuddeyo namwetondera olw’okumwogerako namuyingiza mu ntalo z’ebyobufuzi.
Kati Omuloodi agamba nti alina okwewulirako ku Gen Salim Saleh.
“Ensona gyetwogerako, sinawulira Gen Saleh ng’ aliko kyayogera era New Vision nagitutte mu kkooti esobole okunnyonnyola ani yabyogera,” Lukwago bw’annyonnyodde.
Omuloodi Lukwago agamba buno obubaluwa bugendereddwamu kuwugula bantu okuva ku nsonga enkulu nga ssente ezaduumuddwa mukuddaariza enguudo ezirimu ebinnya mu Kampala awamu ne ssente empitirivu gavumenti zegenda okuguliramu abasuubuzi ettaka mu Kisenyi nga byonna bino byakubba nsimbi zamuwi wa musolo.
Lukwago agasseeko nti obubinja bwaba Mafiya bwebuli emabega wakino era pulaani zabwe Minisita Kabuye Kyofatogabye yaziseesaamu.
Ono annyonnyodde bano bagezaako okulaga ensi nti n’omuntu abalwanirira okusigala mu Kampala n’okutaasa ssente zabwe ate akolagana nabo.
Omuloodi Lukwago alaze okutya nti entalo zaaliko zisobola okutwaliramu obulamu bwe naye mwetegefu okufuuka omujulizi.