Bya Betty Namawanda
Masaka – Buddu
Omuloodi wa Kampala, Erias Lukwago, adduukiridde omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba y’omwami wa Kabaka atwala essaza Buddu eyitibwa Buddukiro ne ssente akakadde kamu okusobola okukwatizaako bannabuddu okusobola okulaba ng’omulimu guno gumalirizibwa.
Ssaalongo Erias Lukwago ategeezezza nti kino kimukakatako nga munnabuddu ate era omusajja omuganda okulaba ng’emirimu egikwata ku Bwakabaka gitambula.
Ettu lino Omuloodi Lukwago alitise omuyambi we, Elvis Kintu Nsonyi ng’abadde awerekeddwako omubaka omulonde owa Bukoto East mu disitulikiti y’e Masaka, Ronald Evans Kanyike, ne basisinkana Ppookino Jude muleke mu yafeesi ye mw’abadde n’omuwanika w’enteekateeka y’okuzimba Buddukiro.
Elvis Kintu Nsonyi ku lwa Lukwago ategeezezza nti kye kiseera bannabuddu baveeyo beekembe bamalirize omulimu guno. Mu ngeri yeemu asabye bannabuddu okukomya okwenyoma,. Ono yeebazizza nnyo Ppookino olw’emirimu emirungi gy’akola. Ye Omwami wa Kabaka atwala essaza Buddu, Ppookino Jude Muleke, yeebazizza Omuloodi Lukwago olw’okujjukira ensibuko ye era n’amwebaza okuvaayo okudduukirira omulimu guno wadde nga mukosefu.
Ppookino Muleke asinzidde wano n’akoowoola bannabuddu bonna gye bali okujja mu bungi okubugiriza Kabaka ku Matikkira aganaabera mu Lubiri e Nkoni.
Wano ssentebe w’olukiiko olukulembera enteekateeka ez’okuzimba ennyumba ya y’omwami wa Kabaka atwala essaza Buddu, Muwonge Elayisha, agamba nti babuzaayo obukadde 184 obusigaddeyo omulimu guno okuggwa ku bukadde 300 ezaali zeetaagibwa ku mulimu guno.