Nabbambula w’omuliro akutte ekizimbe ky’omuggagga Hamis Kiggundu ekimanyiddwa nga Ham Shopping Center ekisangibwa e Nakivubo ne kisenyi mu Kibuga Kampala.
Tekinategeerekeka kiki ekyaviiriddeko omuliro
guno, naye abeerabiddeko n’agabwe bagambye nti gulabika gwatandikidde ku Block
C erimu ebyalaani era nga wano wegwavudde okusasaanira ebifo ebirala.
Muyanja Ismail, omu ku bajjiiriddwa ebintu byabwe
yategeezezza nti kirabika omuliro gwavudde kumasanyalaze agaabadde gavaavaako
mbu era bwegaakomyewo negavaako omuliro.
Bogere Shafiq, nga naye yakoseddwa omuliro yanenyezza poliisi
olw’akasoobo keyakozesezza okujja okubadduukirira.
Yagambye nti baagikubidde okugitegeeza kyokka nga yatuuse nga wayise edaakika nga 30 ng’omuliro gwalanze dda.
Kyokka ayogerera poliisi mu kampala n’emirirwano Luke Oweyesigire yagambye nti poliisi yakoze kyamanyi okutaakiriza omuliro obutasasaana.