Bya Ssemakula John
Kampala
Nnabambula w’omuliro asaanyizzaawo emifaliso wamu n’ebintu ebirala ebibalirirwamu obukadde n’obukadde bwa ssente.
Ekiviiriddeko omuliro guno oguleesewo akasattiro mu bitundu bya Bbanda, Kyambogo ne Kireka, tekimanyibwa wadde ng’abatuuze balumiriza nti gwatandise ku ssaawa nga 7 ez’ekiro mu kiro ekyakeesezza olwaleero.
Bagattako nti balengedde enkoomi y’omukka ng’eva mu kimu ku bizimbe ne bamanya nti akabi kagudde.
We tukoledde egguliro lino nga poliisi tennalaga oba waliwo abantu abalumiziddwa mu muliro guno.
Guno gwe mulundi ogwokusatu ng’ekkolero lino erya Royal Foam mattress likwata omuliro. Mu 2019 omuliro ogwali ogwamaanyi gwaleka gwonoonye ebintu n’abakozi abamu nga balumiziddwa.
Ku olwo kigambibwa nti omuliro gwava ku omu ku bakozi eyali ayokya ebyuma ku kkolero lino.
Abamu ku batuuze bategeezezza nti walabika waliwo ekkobaane nga beetaaga ab’obuyinza banoonyereze ku nsonga evaako omuliro ku kkolero lino.