• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omulimu gw’okusereka Amasiro g’e Kasubi gutandise

Gambuuze by Gambuuze
October 14, 2021
in Amawulire
0 0
0
Omulimu gw’okusereka Amasiro g’e Kasubi gutandise
0
SHARES
91
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kasubi

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga atongozza omulimu gw’okusereka ennyumba Muzibwazaalampanga mu Masiro e Kasubi.

Katikkiro Mayiga, omukolo guno agukoze nkya ya leero ku Lwokuna era n’asiima ababadde emabega w’omulimu guno awamu n’Obuganda bwonna.

“Tukung’aanye wano olwaleero okukola omukolo ogw’ennono omukulu ogukulembera okusereka ennyumba eno Muzibwazaalampanga. Ssaabasajja Kabaka yatuwadde Omulangira Daudi Chwa era y’akulembeddemu emikolo era y’akwasizza Wabulaakayole, Sseddume w’ente  ekitegeeza nti omusaayi gwonna ogwandiyiise mu nnyumba eno gujja kuggweera mu nte eyo. Oluvannyuma alinnye amadaala n’akwasa obuyole buna eri Wabulaakayole era omulimu ne gutandika.” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, oluvannyuma lw’Omulangira okuwaayo obuyole, omulimu gutandikiddewo era n’Omutaka  Kasujja Kyesimba nga ye w’akasolya mu b’Engeye mu mutuba gwa Wabulaakayole naye n’agenda ku Muzibwazaalampanga n’akwasa Muzukkulu we obuyole bubiri.

Owek. Mayiga agambye nti naye  yazze n’ekita ky’omwenge era yalidde entabaluganda okutabaganya ensonga zonna eziri wano era ne yeegobola n’okwegobola, bw’atyo n’akakasa nti emikolo gyonna emikulu gikoleddwa.

Ono asiimye Minisita Kyewalabye Male avunaanyizibwa ku buwangwa, Owek. Kaddu Kiberu, Katikkiro w’amasiro, Abasiige, Abagalagala n’Abazaana, olw’okwewaayo okukola omulimu guno. Asabye abantu obuteeraliikirira kuba basemberedde okumaliriza omulimu gw’okusereka Muzibwazaalampanga.

Minisita avunaanyizibwa ku mulimu guno, Owek. Kyewalabye Male agambye nti mu bbanga si ddene omulimu gw’okusereka gugenda kweyoleka ensi era abantu bajja kuba balaba essubi nga liteekebwa ku nnyumba ya Muzibwazaalampanga. Guno gujja kuba gugenda mu maaso nga n’Abagiriinya bawunda ebizizi n’okuteekateeka munda.

Ate ye Mackay Nakabaale Wabulaakayole annyonnyodde nti  omulimu gukoleddwa wakati mu bwegendereza n’okugoberera ennono era n’agumya Obuganda nti buli kimu kitambula Bulungi.

Ssentebe w’akakiiko k’okuzzaawo Amasiro, Owek. Kaddu Kiberu asabye Abaganda okumanya nti okusereka kuzze kutambula mu mitendera era omulimu guno gututte akaseera  era n’agamba nti waliwo obwetaavu bw’essubi eringi nnyo. Ku nsonga eno asabye abalina essubi okulireeta kuba olugendo lwe baliko lumpi nnyo okusinziira gye bavudde.

Kinajjukirwa nti Amasiro g’e Kasubi gaakwata omuliro nga March 16, 2010, era Obwakabaka bwatandikirawo enteekateeka z’okugazzaawo. Era Kamalabyonna Charles Peter Mayiga abadde agumya abantu lunye okumanya nti Amasiro galiko obulombolombo n’ennono, ebirina okugoberera nga kino kye kimu ku nsonga lwaki gatutte ekiseera kinene okuzzibwawo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.