Bya Ssemakula John
Kampala
Jjajja w’Obuyisiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, asabye Pulezidenti Museveni okuyimbula abaakwatibwa mu nsonga y’ebyobufuzi ng’akabonero akalaga obwetegefu okukolagana n’abo bwe baali bavuganya. Omulangira Nakibinge, bino yabyogeredde mu makaage e Kibuli ng’agabula abakulembeze ab’enjawulo ku kijjulo kya Eid- al -fitr n’abasaba okufaayo ennyo ku mbeera z’abantu.
“Nsaba gavumenti eyimbule abo bonna abakyali mu buwambe. Y’engeri yokka gye tusobola okugenda mu maaso. Kino nkyogedde enfunda eziwera nti tosobola kukaka muntu yenna kwagala by’oyagala oba okukyawa by’okyawa. Tusonyiwagane era tukkirize abakwate okudda eri famire zaabwe ng’akabonero ak’okugatta bannayuganda.” Omulangira Kakungulu bwe yagambye.
Omulangira Nakibinge yalabudde eggye lya UPDF ku muze gw’okukuba bannamawulire mu ggwanga n’abasaba kino kikome mu bwangu era abakikola bavunaanibwe.
Kakungulu era yasabye abakulembeze abaggya okwerabira enjawukana z’obululu naye beegatte bakole ku nsonga eziruma bannayuganda, basobole okukulaakulana.
“Eby’akalulu tubiteeke emabega tutunuulire ebyo ebitugatta nga bannansi. Akalulu kaava kudda naye tufeeyo ku ebyo ebinaatuyamba okufunira abantu baffe eky’okulya.” Omulangira Nakibinge bwe yasabye.
Omulangira Nakibinge yasabye abakulembeze okubeera abenkanya eri abantu bonna si nsonga baabalonda oba nedda.
Omukolo guno gwetabiddwako abakungu ab’enjawulo omwabadde omumyuka asooka owa Katikkiro, Twaha Kaawaase Kigongo, Jjajja Muteesaasira, Omuloodi Erias Lukwago awamu n’abalala.