Bya Ssemakula John
Kibuli
Jjajja w’Obusiraamu, Omulangira Kasim Nakibinge, atabukidde ebitongole by’ebyokwerinda olwokukozesa eryanyi eriyitiridde nga bagumbulula bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya.
Okulabula kuno Omulangira akukoledde Kibuli olwaleero ku Lwokuna mu kusaalira Omugenzi Dr. Anas Kariisa eyafudde mu kiro ky’eggulo n’atendereza emirimu gy’akoledde Obusiraamu n’okuyamba abanaku.
“Sijja kukoowa kugamba bitongole ebikuumaddembe, nammwe mukuume amateeka, musussizza obukambwe, musussizza okutulugunya abantu. Simanyi abagamba kintu kino nti olina kukozesa maanyi ku muntu.” Omulangira Nakibinge bw’annyonnyodde.
Omulangira annyonnyodde nti eryanyi terisobola kwagaza bantu kye baakyawa, baagala kye baagala, n’asaba wabeewo obwenkanya era bannansi basobole okubeera mu mirembe.
Asabye bannayuganda okukuuma empisa, amateeka n’obuntubulamu mu nnaku 90 ez’ebyokulonda n’abakuutira bawulirize abeesimbyewo olwo basalewo ekinaayamba eggwanga.
Nakibinge ategeezezza nti wadde Dr. Kariisa afudde, naye kirungi nti afudde mu ngeri etegeerekeka kuba bangi ku basiraamu bafudde mu nfa etategeerekeka.
Mu bubaka bwa Katikkiro wa Buganda obusomeddwa omumyuka wa Katikkiro asooka, Owek. Hajji Twaha Kawaase Kigongo, Omugenzi ayogeddwako ng’omusajja ayagadde katonda we era abadde akolagana obulungi n’Obwakabaka.
Omukolo guno gwetabiddwako; Supreme Mufti Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa, Lt. Col Edith Nakalema, Omumyuka wa Katikkiro Asooka, Prof. Twaha Kaawaase n’abalala.
Abeegwanyiza obwapulezidenti okuli; Robert Kyagulanyi Ssentamu, Maj Gen Mugisha Muntu ne Lt. Gen. Henry Tumukunde era nga bonna boogeddeko eri abakungubazi.
Bano omwogezi w’e Kibuli, Sheikh Noor Muzata Batte, abambalidde obutagezaako kusaba kalulu nga tebalina nteekateeka nnambulukufu eri abasiraamu naddala ku nsonga y’okuteekawo obwenkanya.
Omu ku beegwanyiza Obwapulezidenti, Robert Kyagulanyi Ssentamu, ategeezezza nga bw’agenda okulwana okulaba ng’abasiraamu bafuna obwenkanya era n’okulaba ng’ayimbula abo abakyakuumirwa mu makomera singa abeere aweereddwa obuyinza.
Oluvudde wano, omubiri gw’omugenzi negutwalibwa ku muzikiti gw’e Wandegeya okugusaalira era ng’oluvannyuma gutwaliddwa e Ruhaama gy’agenda okuziikibwa ku enkya ku Lwokutaano.