
Bya Ssemakula John
Lugazi – Kyaggwe
Omulangira era Jjaja w’Obusiraamu mu ggwanga, Dr. Kassim Nakibinge Kakungulu asabye abantu naddala abakulembeze okuteeka ekitiibwa mu bintu ebiganyulwamu abantu abangi nga emizikiti, amasomero, amalwaliro n’ebirala era bafube okulaba nga bikuumibwa.
Omulangira Mbuga bino okubyogera abadde Lugazi mu Kyaggwe bw’abadde aggulawo Omuzikiti n’Essomero lya Kiyagi UMEA ku wiikendi.
Mbuga era ategezeza nti Okusobola okukuuma ettaka ly’Obusiraamu basaanye okubaako byebakolera ku ttaka kubanga bangi bazze beesenza ku ttaka lyabwe ate oluvanyuma nebeekangabiriza obutalivaako.
Mu ngeri yeemu Omulangira Nakibinge asabye ba Disitulikiti Khadhi mu bitundu ebyenjawulo okukola ekisoboka abakulira emizikiti mu bitundu byabwe basobole okufuna ebyapa byagyo.
Kakungulu akuutidde abazadde bulijjo okussa essira ku byenjigiriza okusobola okuzimba omusingi gw’abaana kubanga beebakulembeze ab’enkya eggwanga kwelirina okuyimirira.

Ye Mmeeya wa Munisipaali ye Lugazi, Aseya John Babtisi ategeezezza Omulangira Nakibinge nti tebalina matendekero ga byamikono bwatyo naamusaba okubakwasizaako ku nsonga eno.
Supreme Khadhi w’ ekitundu kya ‘Greater Mukono’ Sheikh Abdul Noor Kakande asabye abazadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe bakomye okulowoolereza mu kuyambibwa ne batuuka n’okulemererwa okuzimbira abaana baabwe Kaabuyonjo.
Akulira ekibiina ki Precious Hands Charity era ekyazimbiddwa essomero lino ebibiina n’omuzikiti, Sheikh Habiira Kakooza agamba kino bakikola olwokwagala okuyamba abo abalina okusomozebwa.
Ekibiina kino ki kibazimbidde ebibiina 7, Omuzigiti, woofiisi z’abaddukanya essomero, Bisulo by’abayizi n’ebirala.









