• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Omulangira Daudi Chwa alabudde abantu ku Mukenenya

Gambuuze by Gambuuze
December 7, 2022
in Agafa e Mengo
0 0
0
Omulangira Daudi Chwa alabudde abantu ku Mukenenya
0
SHARES
40
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Mengo

Omulangira Daudi Chwa asabye abantu ba Kabaka bulijjo okwewala endwadde naddala Mukenenya obusobola okubazza emabega era bafube okukuza abaana babwe obulungi.

Bino Omulangira Daudi Chwa abyogeredde mu lubiri lwa Ssaabasajja e Mengo   bwabadde atikkula Bannabusiro Amakula.

Omulangira Chwa agambye nti wadde ebirwadde ebyenjawulo nga Ebola ne COVID-19 webiri mu ggwanga  naye abantu amaaso tebalina kugaggya ku Mukenenya kuba ekirwadde kino kisobola bulungi okwewalika.

Omwami wa Kabaka amulamulirako eggombolola ya Mutuba IV Entebbe Lunnyo, Dennis Mpanga akulembeddemu abantu abakiise embuga mu nteekateeka y’okujjuza embiri za Ssaabasajja zibeeremu emmere.

Omwami w’eggombolola eno,  Dennis Mpanga annyonyodde nti basoomozebwa banakigwannyizi abagufudde omugano okunnyaga ettaka ly’Obwakabaka nga nebifo eby’obuwangwa tebabitaliza kwossa nettaka lyabantu

Ye Omulangira  Jonathan Muteesa yeebaziza Bannabusiro olw’okumannya obuvunaanyizibwa bwabwe ate nebafaayo okubutuukiriza.

Katikiro w’Ebyalo bya Kabaka Omuk.Moses Luutu asabye abagoba bebiduka okuvuga nobuvunannyizibwa  okutaasa obulamu bwabantu naddala mu ggandaalo lino erisembedde.

Omumyuka ow’okubiri owa Ssebwana Vicent Kayongo asibiridde abantu ba kabaka entanda okwongera amaanyi mukunnyikiza enteekateeka z’Obwakabaka mu bantu Buganda eyongere okuyitimuka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist