• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Omulamuzi Kisaakye atutte Ssaabalamuzi, Bigirimana n’abalala mu kkooti

Gambuuze by Gambuuze
October 4, 2022
in Eby'obufuzi
0 0
0
Omulamuzi Kisaakye atutte Ssaabalamuzi, Bigirimana n’abalala mu kkooti
0
SHARES
53
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala – Kyaddondo

Omulamuzi wa kkooti ensukkulumu  Esther Kitimbo Kisaakye  atutte Ssaabalamuzi Alphonse Owiny Dollo, omuteesiteesi omukulu owa Minisitule y’ekitongole ekiramuzi, Pius Bigirimana mu kkooti etaputa Ssemateeka nga agamba nti bano bamutulugunya.

Mu musango guno, Kisaakye agamba nti okuva lwebava mu kalulu ka Vvaawompitewo aka 2021 mu musango gwa Robert Kyagulanyi Ssentamu mweyali awakanyiza obuwanguzi bwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ono atyoboddwa abantu abenjawulo.

Mu bano kuliko Ssaabalamuzi Owiny Dollo, Pius Bigirimana nakulira abakozi mu kitongole kino Apophia Tumwine awamu nakulira abawandiisi ba kkooti Sarah Langa.

Omulamuzi Kisaakye agamba nti ekikolwa kya Ssaabalamuzi okumugaana okusoma ensala ye awamu n’okuggala kkooti nga bamulemesa okuyingirayo nokuwa bannamawulire ensala ye tekyali mu mateeka.

“Omuwaabi agamba nti ebikolwa by’omuvunaanwa asooka (Ssaabalamuzi Dollo) awamu nabakulu mukitongole ekiramuzi okufulumya ekiwandiiko eri bannamawulire nga bamuvunaana kwebyo ebyaliwo nga March, 18, 2021 ku kkooti ensukkulumu byali bikontana ne Ssemateeka,” Ekiwandiiko ekiraga empaaba bwekigamba.

Omulamuzi Kisaakye alumiriza nti Ssaabalamuzi Dollo, Pius Bigirimana bagaana okumuwa ssente z’obujjanjabi era nebatawa ddaala lyaliko kitiibwa byonna byagamba nti byali bikyamu.

“ Nga omuwaabi tamanyi era nga tewali muntu yenna avuddeyo kwemulugunya, ku nnaku z’omwezi nga  March, 20, 2021 abakakiiko akagaba emirimu mu kitongole ekiramuzi batandika okumunoonyerezaako kwebyo ebyaliwo wakati wa 18th  ne 19th March 2021 ku kkooti enkulu, ekivoola ssemateeka,” Ekiwandiiko kya kkooti bwekigambye.

Okusinziira ku Kisaakye ekikolwa kya Ssaabalamuzi okukuta nalagira akakiiko akagaba emirimu okunoonyerezaako kyali kimenya Ssemateeka.

Kisaakye agamba nti bano bamugaana okutwala oluwummula lwe olwa buli mwaka era baggyawo ensako ya ddereeva we n’omukuumi we.

Ono ategeezezza nti wadde bweyakoma okuva mu luwummula nga 27, June, 2022 yategeeza Ssaabalamuzi  nabakwatibwako nti akomyewo okukola bagenda mu maaso nokumuboola.

Kisaakye agamba nti bino byonna ebimukolebwako si nsobi naye abakulu mukitongole kino bagezaako okumubonereza olw’okukola ekyo ekimulagirwa mu mateeka ng’ awa ensala ye ku musango ogwali guwakanya obuwanguzi bwa pulezidenti Museveni.

Omulamuzi Kisaakye kati ayagala kkooti etaputa ssemateeka eragirire nti ebikolwa bino byali bikyamu era ayagala emulambike ku nsonga z’ebyensimbi nezo ebitali za nsimbi asobole okufuna obwenkanya.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.