Bya Ssemakula John
Kampala
Alina bbendera ya National Unity Platform (NUP) ku bwapulezidenti Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, agamba nti ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda, Omulamuzi Simon Byabakama, alemeddwa okuweereza abeesimbyewo bonna mu bwenkanya era nga ke kaseera alekulire.

Kyagulanyi eyayitiddwa eggulo ku Mmande okunnyonnyolwa lwaki ajeemera ebiragiro n’atalabikako wabula n’aweereza ababaka ekintu, akakiiko k’ebyokulonda kye kaagaanye era ne kamulagira yeetuukire mu buntu.
Olwaleero zigenze okuwera essaawa ennya ez’oku makya nga Kyagulanyi mutaka ku kitebe kya kakiiko era ng’abadde awerekeddwako omwogezi w’ekibiina, Joel Ssenyonyi wamu ne bannakibiina abalala. Bano bayingidde mu kafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire.
Oluvannyuma Kyagulanyi ayogeddeko eri bannamawulire n’ategeeza nti ekigendererwa ky’okumuyita mu kakiiko kwabadde kumumalira budde aleme kukuba nkung’aana ze naye nga temuli mulamwa.
Bobi Wine agasseeko nti Byabakama alemeddwa okukoma ku Pulezidenti Museveni kuba naye akuba enkung’aana ez’abantu abangi kyokka natayitibwa.
“Aba NRM bakuba enkung’aana era bakuba kkampeyini naye tabayita. Omulamuzi Byabakama nkimugambye nti alemeddwa okukola omulimu gwe mu bwenkanya,” Bobi Wine bwagambye.
Ono annyonnyodde nti ategeezezza Omulamuzi Byabakama nti bw’aba tasobola kuweereza bannayuganda bonna mu bwesimbu kye kiseera alekulire ekifo akiweeyo bakifuniremu omuntu asobola okuteekawo obwenkanya.
“ Bali mu kulemesa kkampeyini zange nga bampita mu kakiiko, ensonga ya poliisi okutukozesaako eryanyi erisusse tebagifuddeko.” Kyagulanyi bw’agambye.








