• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omulamuzi Byabakama: Abawakanya ebyavudde mu kalulu k’Omoro bagende mu kkooti

Gambuuze by Gambuuze
June 2, 2022
in Amawulire
0 0
0
Omulamuzi Byabakama: Abawakanya ebyavudde mu kalulu k’Omoro bagende mu kkooti
0
SHARES
60
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Ssentebe w’Akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama, awakanyizza ebyogerwa ab’oludda oluvuganya nga akalulu k’ Omoro bwekabadde Vvulugu n’okugulirira abalonzi nti bino si bituufu kuba ye yennyini yaliyo naye bweba balina obujulizi balumbe kkooti.

Kino kiddiridde ebibiina ku ludda oluvuganya okuwakanya obuwanguzi bwa munnakibiina ki National Resistance Movement (NRM), Andrew Ojok eyawangula akalulu kano nadda mu kifo kya kitaawe eyali Sipiika Jacob Oulanyah.

Omulamuzi Byabakama  agamba nti yaliyo mu kalulu kano era amateeka agakwatagana n’akalulu gagobererwa bulungi.

“Ekizibu kyetulina mu bigambo by’okugulirira abalonzi, ababyogera ate si beetegefu kuvaayo bawaabe ebikolwa bino eri ab’obuyinza wadde bakimanyi nti musango oguvunaanibwa mu mateeka g’ebyokulonda. Naye etteeka terisobola kuluma nga teriyambiddwako kuteekebwa mu nkola ate okuliteeka mu nkola walina okubaawo aloopa ku poliisi,” Byabakama bwe yagambye.

Byabakama yannyonnyodde nti amateeka malambulukufu ku nsonga y’okugulirira abalonzi nasaba abalina obujulizi okugenda mu kkooti esazeemu akalulu kano.

Ono yakkiriza nga akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Owek. Mathias Mpuuga bweyamukubira essimu namutegeeza nga bwewaliwo abantu ba NUP abaali bakwatiddwa era namusaba akwatagane ne Kamisona wa poliisi eyali adduumira eby’okwerinda.

Okusinziira ku Byabakama, Kamisona wa poliisi yamutegeeza nti balina munnakibiina ki NUP gwebali bakutte oluvannyuma lw’okumwekengera nga ayinza okutabangula akalulu kano era byebyo byeyasobola okumutegeeza.

Byabakama agamba nti mu kalulu kano abantu balina eddembe okutambula wonna kuba tewaliwo muntu yenna gwebaali bakugira kutambula.

Share this:

Tags: Andrew Ojok OulanyahMathias MpuugaSimon Byabakama
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist