
Bya Shafik Miiro
Kako – Buddu
Omulabirizi wa West Buganda omuggya Rt. Rev. Gaster Nsereko atuuziddwa, Obwakabaka nebumusubiza obuwagizi mu ngeri yonna esobola.
Ekisuubizo kino kikoleddwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa bw’ abadde asoma obubaka bwa Kamalabyonna ku mukolo oguyindidde e Kako mu Buddu ku Ssande.

Mu bubaka buno, Katikkiro Charles Peter Mayiga akulisizza abantu ba West Buganda olw’ okufuna Rev. Nsereko muzzukulu wa Nnamwama ng’omulabirizi gw’agambye nti ajja kuweereza mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa.
Katikkiro ayozaayozezza Omulabirizi Nsereko olw’obuweereza bwonna bw’abaddeko mu bitundu ebyenjawulo ne yebaza ne bonna abamukwatiddeko naddala mukyala we ne Famire ye.
Ono asabye Abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna okuwagira Omulabirizi ono omuggya asobole okukulembera mu mirembe.
“Nsuubiza Omulabirizi nti Obwakabaka bwetegefu okumuwagira mu nteekateeka ez’okukulaakulanya Obulabirizi n’Obwakabaka bwa Buganda” Katikkiro Mayiga.
Mu ngeri ey’enjawulo, Katikkiro akulisizza Omulabirizi omuwummuze Rt. Rev. Henry Katumba Tamale gw’ayogeddeko nga mukwano gwa bangi era amwebazizza ne mukyala we olw’enkulaakulana ze bakoze mu bulabirizi bwa West Buganda z’agamamba nti ebibala byazo birabwako.
Omulabirizi Gaster Nsereko ye Mulabirizi wa West Buganda ow’omusanvu azze mu bigere bya Rt. Rev Henry Katumba Tamale era omukolo gw’okumutuuza gukulembeddwamu Ssaabalabirizi Rt. Rev. Steven Kazimba Mugalu.
Omukolo guno gwetabiddwako Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, Minisita Noah Kiyimba, Minisita Robert Serwanga, Minisita Choltilda Nakate Kikomeko, Pookino Jude Muleke, Lumaama David Luyimbaazi, Owek. Gertrude Ssebuggwawo n’Abaami ba Kabaka abalala ku mitendera egy’enjawulo, Bannaddiini, Abakulembeze mu Gavumenti eyawakati, Bannabyabufuzi n’abantu abalala.