Bya Musasi waffe
Omukulembeze wakabinja kabannalukalala akamanyiddwa nga Islamic State, Abubakr Al Baghdadi afudde oluvanyuma lw’ekikwekweto ekyakoleddwa amagye ga Amerika kunfo ye gyabadde yeekukumyemu muggwanga lya Syria. Omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Donald Trump yategeezeza ensi nga asinzira mumaka g’obwapulezindenti White House, nti amagye gaalumbye Baghdadi abadde amaze akabanga kamyaka etaano nga awenjezebwa, negagala okumukwata wabula nabesimattuluko n’adduka neyeesogga omudumu ne batabanibe babiri. Embwa zimutaseka zaasindikiddwa mudumu guno okumusokolayo wabula tekyasobose oluvanyuma yekkenyini okwetulisizaako bbomu eyamutiddewo. Mu 2014, aba Islamic State baawamba ettundutundu kuggwanga lya Iraq ne Syria olwo nebalangirira nga bwebaali bakoze eggwanga ly’abasiramu . Kino kyawaliriza ensi okukola omukago okubalwanyisa era nga w’osomera bino, baafufuggazibwa nga n’ebintudu byonna bye baali bawambye amagye g’omukago gaabibagobamudda.