Musasi waffe

Omukulembeze w’eggwanga lya Burundi ery’omulirwano ne Uganda Pierre Nkurunziza afudde.
Nkurunziza akulembedde Burundi okumala emyaka 15 afudde eggulo lyaleero mu ddwaliro e Bujumbura gyeyaddusiddwa ku Lwomukaaga nga ali bubi.
Kigambibwa Nkurunziza yabadde alaba mupiira mu kisaawe ekimu e Bujumbura, embeeraye n’etabuka naatwalibwa mu ddwaliro kyokka Ku Sunday embeera yateredde naaba bulungi wabula eggulo yazzeemu okutabuka era naatwalibwa mu kasenge k’abayi akamanyiddwa nga Intensive Care Unit eno omutima gye gwesibidde leero nafa.
Ebigambo biyitingana nti ono yafudde kirwadde kya coronavirus.
Omwezi oguwedde eggwanga lya Burundi lyategeka okulonda k’obwapulezidenti okwawangulwa munnakibiina kya National Council for the Defense of Democracy-Forces for the Defense of Democracy, [CNDD-FDD], Evariste Ndayishimiye.
Kyokka newankubadde nga Nkurunziza abadde obwa pulezidenti agenda kubuvaako mu August, abadde agenda kusigala ng’omukulembeze w’okuntikko amanyiddwa nga Supreme Guide to Patriotism.
Nkurunziza yafuuka Pulezidenti wa Burundi mu 2005 oluvannyuma lw’olutalo olwamala emyaka 10.
Mu 2015 yasalawo okwongezaayo ekisanja kye newankubadde nga ssemateek yali alagira emyaka 10.
Ono yagamba etaano gyeyali asoose okufuga tagibala.
Eggwanga lyagwamu akatabanguko era Bannamagye nebagezaako okumuwamba.
Kyokka yasobola okuzza embeera mu nteeko era nawangula ekisanja ekyokusatu.
Ono era yakyusa ssemateeka najja ekkomo ku bisanja kyokka mu 2019 yewuunyisa ensi bweyagamba nti tajja kuddamu kwesimbawo.
Okutuusa mu August omukulembeze omupya bwanaatwala entebe, sipiika w’olukiiko lw’eggwanga olukulu yagenda okugira nga akola nga pulezidenti.