
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abakulembeze bulijo okuwummula nga tebasindikiriziddwa kiyambe okuteekawo ekifaananyi ekirungi eri abalala.
Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abuwadde asisinkanye Omulabirizi wa West Buganda agenda okuwummula Rt. Rev. Henry Katumba Tamale mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
“Omukulembeze okuwummula awatali kusindiikirizibwa kitegeeza nti ategedde nti Katonda obusobozi teyabuwa ye yekka wabula n’abalala, kirungi n’owaayo obuvunaanyizibwa eri abalala ng’okyalina obusobozi n’olaga nti okuwummula si kukoowa” Owek. Mayiga.
Ono yeebazizza Omulabirizi Tamale olw’okubeera eky’okulabirako ekirungi eri abalala.
Kamalabyonna Mayiga agamba nti mu Africa abakulembeze bangi balowooza nti omuntu okuwummula alina kusooka kukoowa oba kumaliriza mirimu gyonna, kino agamba nti si kituufu.
Mayiga agattako nti kirungi okulekera abalala nabo ne bakola obuvunaanyizibwa omuntu naasobola okuwummula mu Mirembe ate nabaako emirimu emirala gyakola.

Katikkiro yebazizza Bp. Tamale olw’obuweereza bwe bw’agambye nti bubadde n’ebibala bingi ebirabwako era asize ensigo esaasanidde n’awalala yonna.
Amusiimye obutakoma kulyowa myoyo kyokka wabula n’akubiriza abantu okukola okwekulaakulanya ate naye n’ateekawo enkulaakulana ez’enjawulo mu bulabirizi ne mu kkanisa ya Uganda, ate ng’ayogera ne ku nsonga eziruma abantu.
Bwatyo amukulisizza obuweereza wamu n’omukyala Canon Julia Elizabeth Tamale naabaagaliza okuwummula obulungi n’okusigala nga baweereza mu mbeera endala.
Rt. Rev. Henry Katumba Tamale yebazizza Obwakabaka olw’okutambula naye mu buweereza bwe, era yeyanzizza nnyo Ssaabasajja olw’amaanyi g’atadde mu kusitula omutindo gw’obulamu bw’abantu be mu byenjigiriza, ebyobulamu, ebyenfuna n’ebirala.

Mu ngeri y’emu Bp. Tamale yebazizza nnyo ne Katikkiro Mayiga olw’okuweereza obulungi Kabaka, ate n’olwokunyweza obumu mu bantu ba Buganda awatali kusosola. Ono agamba nti omukwano n’enkolagana byafunye mu Bwakabaka bimuyambye nnyo okukola obulungi emirimu gye.
Kinajjukirwa nti Canon Guster Nsereko ye Mulabirizi omuggya eyalondeddwa okudda mu bigere bya Bp. Katumba Tamale eyawummudde oluvannyuma lw’okuweza emyaka 65 bwatyo nafuuka Omulabirizi ow’omusanvu ow’Obulabirizi bwa West Buganda.