
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba asabye abantu ba Buganda bulijjo okufaayo bamanye obuwangwa bwabwe, ennono n’empisa bwebaba baagala okugenda mu maaso.
Okusaba kuno Nnamwama Mutumba akukoledde mu lukung’aana lwa bannamawulire lwatuuzizza mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri okulambulula ku nteekateeka z’omusomo gw’ennono ogutekeddwa Abataka Abakulu ab’Obusolya.
Omutaka Mutumba ategeezezza nti omusomo guno gugenda kuyamba nnyo abantu ba Buganda okutegeera n’okutandika okwenyumiriza mu buvo bwabwe n’obukulu bw’Ebika byabwe naasaba abazzukulu okubaawa nga 27, Novemba mu Lubiri lwa Beene e Mmengo babangulwe.
Nnamwama Kizito annyonnyodde nti kumulundi guno essira liteereddwa ku busika n’okwabya Olumbe okulaba nga abantu bategeera ennono n’ennambika entuufu ku enteekateeka kuba bakizudde nga ebadde eserebye nokulinnyirirwa nga singa abantu balambikibwa yakuddamu okugobererwa nokusibwamu ekitibwa.
Ono agasseeko nti bakusomesa abazzukulu ku kituufu wakati w’enzikiriza n’amateeka agakwata ku nnono y’obusikan’okwabya ennyimbe kuba bakisanze nga kino kibadde kibatabula n’okuleetawo obukubagano.

Ye Ssentebe w’enteekateeka y’omusomo guno, Omutaka w’Ekinyomo Nakigoye Samson Nabbimba annyonyodde nti baluubiridde okulaba nga endoolito ezeekusa ku busika ezibadde zisuse mu famire ez’enjawulo zikoma ate nokwongera okunnyikiza Ebika mu abantu.
Minisita w’Obuwangwa ne nnono Owek.Anthony Wamala ategeezezza nti okuyita mu musomo guno abantu bakuyiga ensibuko y’ensi Buganda nokwongera okugitegeera bajaagale ate bagisomese abalala.
Ate Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone mu Buganda, Owek. Robert Sserwanga akubiriza abavubuka okukozesa omusomo guno okuyiga bye batamannyi ku buvo bwabwe .
Omusomo guno gwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Obusika mu Buganda musingi gwa Buntubulamu” nga okuyingira kwa mitwalo 20000.









