Bya Ssemakula John
Buddu
Omukiise w’essaza lye Buddu mu lukiiko lwa Buganda, Paul Kagombe Mugwanya era nga ye mutandisi w’essomero lya St. John Paul Mugwanya Complex Primary School e Masaka, agattiddwa mu bufumbo obutukuvu n’omwagalwa we Doreen Nabuuma.
Bano bagattiddwa mu Eklezia e Kitovu nga Omusumba Serverus Jjumba yabagasse nabakuutira okwagalana n’okutya Katonda mu mbeera yonna basobole okunyumirwa obufumbo bwabwe.
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga mu bubaka bwe bwattise Minisita Noah Kiyimba asiimye abagole olw’okusalawo okutukuza obufumbo bwabwe nga kino kigenda kubayamba okuwangula obulamu bw’ensi.
“Mukoze bulungi okusalawo okutukuza obufumbo bwammwe, kubanga awo wemunasobola okuwangula obulamu bw’ensi eno, kubanga kati mugenda kwesigangana nokubeeragana,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza mu bubaka bwe.
Owek. Mayiga bano abakuutidde okukulembeza okwagala, obunyikivu, obugumiikiriza nobwetowaze okuva ku buli ludda kubanga obufumbo bubeera bwa babiri.
Kamalabyonna atenderezza Mugwanya olw’okuba omusajja omukozi nga kino kyeyolekera mu ssomero lye erya erizze liwangula empaka za Buganda Royal Art Festival ez’okwolesa ebitone n’ebiyiiye ezibaawo buli mwaka.
Omukolo gwetabiddwako ebikonge ebyamanyi okuva mu Bwakabaka mu Ssaza lye Buddu wamu n’abakungu okuva mu gavumenti eyawakati.